ESITEERI 6
6
Kabaka awa Moruddekaayi ekitiibwa
1Ekiro ekyo, kabaka n'abulwa otulo, n'alagira okumuleetera ekitabo eky'ebigwawo buli lunaku, ebigwana okujjukirwa, ne babimusomera. 2Ne basanga nga kiwandiikiddwa, nga Moruddekaayi bwe yaloopa olukwe, olwakolebwa Bigitaana ne Teresi, ababiri ku balaawe ba kabaka abaggazi, abaagezaako okutemula Kabaka Ahaswero.#Laba ne Es 2:21-22 3Kabaka n'abuuza nti: “Kitiibwa ki na bukulu ki Moruddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo?”
Awo abaweereza ba kabaka ne bamugamba nti: “Tewali kyali kimuweereddwa.”
4Kabaka n'abuuza nti: “Ani ali mu luggya?”
Mu kiseera ekyo Hamani yali yaakayingira mu luggya olw'ebweru olw'omu lubiri, ng'azze okusaba kabaka amuwe Moruddekaayi awanikibwe ku kalabba, ke yali amaze okukola. 5Abaweereza ba kabaka ne bamugamba nti: “Hamani ye ali mu luggya.”
Kabaka n'agamba nti: “Ayingire.”
6Awo Hamani n'ayingira era kabaka n'amugamba nti: “Kiki ekigwanidde okukolerwa omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa?”
Hamani n'alowooza mu mutima gwe nti: “Ani kabaka gwe yandyagadde okuwa ekitiibwa okusinga nze.”
7Awo Hamani n'agamba kabaka nti: “Omuntu kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa, 8baleete ebyambalo bya kabaka bye yali ayambaddemu, n'embalaasi kabaka gye yali yeebagaddeko, era etikkiddwa ku mutwe engule ey'obwakabaka. 9Ebyambalo ebyo n'embalaasi, bikwasibwe omu ku bakungu ba kabaka abasingira ddala ekitiibwa, amwambaze ebyambalo ebyo, era amukulembere ng'amwebagazza embalaasi, amuyise mu kibuga wakati, agende ng'alangirira nti: ‘Bw'atyo omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa, bw'agwanidde okuyisibwa!’ ”
10Awo kabaka n'agamba Hamani nti: “Yanguwa oleete ebyambalo n'embalaasi, Moruddekaayi Omuyudaaya omuwe ekitiibwa ekyo. Buli kyonna ky'oyogedde, ky'oba omukolera ddala obutalekaayo n'ekimu. Ojja kumusanga ng'atudde ku mulyango gw'olubiri.”
11Awo Hamani n'aleeta ebyambalo n'embalaasi n'ayambaza Moruddekaayi, n'amwebagaza embalaasi, n'amukulembera okumuyisa mu kibuga wakati, ng'agenda alangirira nti: “Bw'atyo omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa, bw'agwanidde okuyisibwa!”
12Ebyo bwe byaggwa, Moruddekaayi n'akomawo ku mulyango gwa kabaka. Naye Hamani n'ayanguwa okuddayo ewuwe ng'anakuwadde, era nga yeebisse omutwe gwe. 13Hamani n'abuulira mukyala we Zeresi ne mikwano gye bonna, buli kintu ekyali kimutuuseeko. Awo abasajja abagezi, ne Zeresi mukyala we, ne bamugamba nti: “Moruddekaayi oyo, nga bw'otandise okutoowazibwa mu maaso ge, bw'aba nga wa mu lulyo lwa Bayudaaya, tojja kumusobola, wabula ojja kweyongera bweyongezi okutoowazibwa.”
14Awo bwe baali nga bakyayogera, abalaawe b'omu lubiri ne bajja mu bwangu okutwala Hamani ku kijjulo, Esiteeri kye yali afumbye.
Právě zvoleno:
ESITEERI 6: LBwD03
Zvýraznění
Kopírovat
Porovnat
Sdílet
Chceš mít své zvýrazněné verše uložené na všech zařízeních? Zaregistruj se nebo se přihlas
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.