1
Yokaana 4:24
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”
Karşılaştır
Yokaana 4:24 keşfedin
2
Yokaana 4:23
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima.
Yokaana 4:23 keşfedin
3
Yokaana 4:14
Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”
Yokaana 4:14 keşfedin
4
Yokaana 4:10
Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”
Yokaana 4:10 keşfedin
5
Yokaana 4:34
Yesu n’abaddamu nti, “Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe.
Yokaana 4:34 keşfedin
6
Yokaana 4:11
Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo.
Yokaana 4:11 keşfedin
7
Yokaana 4:25-26
Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”
Yokaana 4:25-26 keşfedin
8
Yokaana 4:29
“Mujje mulabe omuntu antegeezezza buli kye nnali nkoze. Ayinza okuba nga ye Kristo?”
Yokaana 4:29 keşfedin