Matayo 16

16
Abafalisaayo n'Abasaddukaayo basaba Yesu akabonero
(Mak 8:11-13, Luk 12:54-56)
1Abafalisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu, ne bamukema nga bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu.#Mak 8:11-21, Mat 12:38 2Naye Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “ Bwe buba akawungeezi, mugamba nti [‘Bunaaba bulungi, kubanga eggulu limyuse.’#Luk 12:54-56 3Ku makya mugamba nti, ‘Wanaabayo omuyaga leero, kubanga eggulu limyuse era libindabinda.’ Mumanyi okunnyonnyola endabika y'eggulu; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro?]#Mat 11:4 4Ab'emirembe gino emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; naye tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona.” Awo n'abaleka, n'agenda.#Yon 1:17, Mat 12:39,40
Ekizimbulukusa ky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo
(Mak 8:14-21)
5Abayigirizwa bwe batuuka emitala w'eri, baali beerabidde okutwala emigaati. 6Yesu n'abagamba nti, “Mulabuke mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.”#Luk 12:1 7Bo ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti, “Kubanga tetuleese migaati.” 8Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono, kiki ekibawakanya mwekka na mwekka olw'okuba temulina migaati?#Mat 6:30 9Temunnaba kutegeera, so temujjukira migaati etaano, egyakkusa abantu enkumi ettaano (5,000), n'ebibbo bwe byali bye mwakuŋŋaanya?#Mat 14:17-21 10Era emigaati omusanvu, egyakkusa abantu enkumi ennya (4,000), n'ebisero bwe byali bye mwakuŋŋaanya?#Mat 15:34-38 11Ekibalobedde ki okutegeera nti sibagambye lwa migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.” 12Ne balyoka bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula okwekuuma okuyigiriza kw'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.#Yok 6:27
Peetero ayatula nti Yesu ye Kristo
(Mak 8:27-30, Luk 9:18-21)
13Awo, Yesu bwe yajja ku njuyi z'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuuza abayigirizwa be, ng'agamba nti, “Omwana w'omuntu abantu bamuyita batya?”#Mak 8:27-30, Luk 9:18-21 14Ne bamuddamu nti, “Abalala bamuyita Yokaana Omubatiza; abalala nti Eriya, abalala nti Yeremiya, oba omu ku bannabbi.”#Mat 14:2; 17:10 15Awo ye n'ababuuza nti, “Naye mmwe mumpita mutya?” 16Simooni Peetero n'addamu n'agamba nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”#Yok 6:69 17Yesu n'amuddamu n'amugamba nti, “Olina omukisa, Simooni Ba-Yona! Kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.#Bag 1:15,16, Mat 17:4,5 18Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nze ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno, so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza.#Yok 1:42, Bef 2:20 19Ndikuwa ebisumuluzo by'okwakabaka obw'omu ggulu, kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa ne mu ggulu, kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululwa ne mu ggulu.”#Mat 18:18 20Awo n'akuutira abayigirizwa baleme okubuulirako omuntu nti ye Kristo.#Mat 17:9
Okubonaabona kwa Kristo kutegeezebwa
(16:21—17:27)
Yesu alanga okufa kwe n'okuzuukira kwe
(Mak 8:31—9:1, Luk 9:22-27)
21Okuva olwo, Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa.#Mat 12:40, Yok 2:19 22Awo Peetero n'atwala Yesu ku bbali, n'atanula okumunenya, ng'agamba nti, “Nedda, Mukama wange! Ekyo tekirikubaako n'akatono.” 23Yesu n'akyuka, n'agamba Peetero nti, “Dda emabega wange, Setaani! Oli nkonge gye ndi; kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.” 24Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw'ayagala okujja emabega wange, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.#Mat 10:38,39 25Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba. 26Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe? Oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?#Mat 4:8 27Kubanga Omwana w'omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be; n'alyoka asasula buli muntu nga bwe yakola.#Yok 5:29, Bar 2:6, Zab 62:12, Nge 24:12 28Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.”#Mat 10:23

Айни замон обунашуда:

Matayo 16: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy