Malaki 1
1
Okwagala kwa Mukama
(1:1-5)
1Obubaka bw'ekigambo kya Mukama eri Isiraeri ekyajja okuyita mu Malaki.
2“Nnabaagala,” bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti, “Watwagala otya?” “Esawu teyali muganda wa Yakobo?” Bw'ayogera Mukama, “Era naye nnamwagala Yakobo;#Bar 9:13 3naye Esawu nnamukyawa, ne nfuula ensozi ze okuba amatongo, ne mpa obusika bwe ebibe eby'omu ddungu.”#Yer 49:18, Ez 35:3, Yo 3:19 4Kubanga Edomu ayogera nti, “Tukubiddwa, naye tulidda ne tuzimba ebifo ebyazika;” bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Bo balizimba, naye nze ndyabya, era abantu banaabayitanga nti Nsi ya bubi, era nti bantu Mukama banyiigira ennaku zonna.” 5Era amaaso gammwe galiraba, ne mwogera nti, “Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isiraeri!”
Ebibi bya bakabona
(1:6—2:9)
6“Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n'omuddu mukama we, kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa?” Era oba nga ndi mukama, okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w'eggye bw'agamba mmwe, Ayi mmwe bakabona abanyooma erinnya lyange. Era mwogera nti, “Twali tunyoomye tutya erinnya lyo?#Kuv 4:22; 20:12, Kos 11:1, Luk 6:46 7Muweerayo ku kyoto kyange omugaati ogwonoonese. Era mwogera nti,‘Twakwonoona tutya?’ Nga mulowooza nti, Emmeeza ya Mukama eyinza okunyoomebwa. 8Era bwe muwaayo ensolo enzibe y'amaaso okuba ssaddaaka, obwo si bubi! Era bwe muwaayo ewenyera n'endwadde, obwo nabwo si bubi! Kale nno gitonere oyo akutwala; anaakusanyukira? Oba anakkikiriza naakisiima?” Bw'ayogera Mukama w'eggye,#Leev 22:22 9“Kale nno mbeegayiridde, musabe ekisa kya Katonda, atukwatirwe ekisa. Ng'olina ekirabo bw'ekityo mungalo zo, anakkikiriza naakisiima?” Bw'ayogera Mukama w'eggye.#Ma 10:17 10Mu mmwe singa mubaddemu n'omu eyandiggaddewo enzigi, muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange obwereere! Sibasanyukira n'akatono, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sikkirize kiweebwayo ekiva mu mukono gwammwe.#Is 1:11,13, Yer 6:20, Am 5:21 11Kubanga okuva enjuba gy'eva okutuusa gy'egwa erinnya lyange kkulu mu b'amawanga; era obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, n'ekiweebwayo ekirongoofu; kubanga erinnya lyange kkulu mu b'amawanga, bw'ayogera Mukama w'eggye.#Is 56:7; 60:3; 65:1 12Naye mmwe mulivumisa, kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'ebibala byayo, ne mmere ye, enyoomebwa. 13Era mwogera nti Laba, omulimu guno nga guyinze! Era munsoozezza, bw'ayogera Mukama w'eggye; era muleese ekyo ekyanyagibwa olw'amaanyi, n'ekiwenyera, n'ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo, nnandikkiriza ekyo mu mukono gwammwe? bw'ayogera Mukama.#Leev 22:20, Is 43:22, Mi 6:3, Mal 3:14 14Naye oyo alimba akolimirwe, alina ennume mu kisibo kye, ne yeeyama n'awaayo ssaddaaka eri Mukama ekintu ekiriko obulema, kubanga nze ndi kabaka mukulu, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'erinnya lyange lya ntiisa mu b'amawanga.#Kuv 12:5, Leev 22:21, Zab 47:2; 76:12
Айни замон обунашуда:
Malaki 1: LBR
Лаҳзаҳои махсус
Паҳн кунед
Нусха
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.