Lukka 5

5
Yesu ayita abayigirizwa abaasooka
(Mat 4:18-22, Mak 1:16-20)
1Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'ayimiridde ku lubalama lw'ennyanja y'e Genesaleeti, ebibiina ne bimunyigiriza bawulire ekigambo kya Katonda;#Mat 4:18-22, Mak 1:16-20 2n'alaba amaato abiri nga gali ku nnyanja: naye abavubi baali bagavuddemu nga booza obutimba bwabwe. 3Awo n'asaabala mu limu ku maato ago, eryali erya Simooni; n'amugamba okulisembezaayo katono okuva ku ttale. N'atuula n'ayigiririza ebibiina ng'ali mu lyato. 4Bwe yali ng'amaze okwogera, n'agamba Simooni nti, “Sembera ebuziba, musuule obutimba bwammwe, muvube.”#Yok 21:6 5Simooni n'addamu n'amugamba nti, “ Omwami, twateganye okukeesa obudde ne tutakwasa kintu: naye olw'ekigambo kyo kansuule obutimba ” 6Awo bwe baakola bwe batyo, ne bakwasa ebyennyanja bingi nnyo nnyini; obutimba bwabwe ne bwagala okukutuka; 7ne bawenya bannaabwe mu lyato eddala, bajje babayambe. Ne bajja ne bajjuza amaato gombi, n'okukka ne gaagala n'okukka. 8Naye Simooni Peetero, bwe yalaba kino, n'avuunama ku bigere bya Yesu, n'agamba nti, “ Ndeka; Mukama wange, kubanga ndi mwonoonyi ” 9Kubanga yawuniikirira ne bonna abaali naye olw'ebyennyanja ebingi bye baakwasa; 10ne Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo, abaali bakolera awamu ne Simooni nabo ne bawuniikirira bwe batyo. Yesu n'agamba Simooni nti, “ Totya: okuva kaakano onoovubanga abantu.”#Mat 13:47 11Awo bwe baagobya amaato gaabwe ettale, ne baleka byonna, ne bagenda naye.#Mat 19:27
Yesu awonya omugenge
(Mat 8:1-4, Mak 1:40-45)
12Awo olwatuuka bwe yali mu kibuga ekimu ku ebyo, laba, waaliwo omuntu eyali ajjudde ebigenge; oyo bwe yalaba Yesu, n'avuunama amaaso ge n'amwegayirira, ng'agamba nti, “Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.”#Mat 8:1-4, Mak 1:40-45 13Yesu n'agolola omukono gwe n'amukwatako n'agamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago ebigenge bye ne bimuwonako. 14Yesu n'amukuutira obutabuulirako muntu n'omu; naye n'amulagira nti, “Genda, weerage eri kabona, oweeyo eby'okulongooka kwo, nga Musa bwe yalagira, okuba omujulirwa gyebali.”#Leev 13:49; 14:2-32 15Naye ebigambo bye ne byeyongera bweyongezi okubuna, ebibiina bingi ne bikuŋŋaana okuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe. 16Naye Ye ne yeeyawula n'agenda mu malungu n'asaba.#Mak 1:35
Yesu awonya eyali akoozimbye
(Mat 9:1-8, Mak 2:1-12)
17Awo olwatuuka ku lunaku olumu ku ezo, Yesu yali ng'ayigiriza; Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka baali batudde awo, abaali bavudde mu buli kibuga eky'e Ggaliraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: n'amaanyi ga Mukama gaali naye okuwonya.#Mat 9:1-8, Mak 2:1-12 18Laba, abantu ne baleetera omuntu ku kitanda eyali akoozimbye: ne basala amagezi okumuyingiza, n'okumuteeka mu maaso ge. 19Bwe bataalaba wa kumuyingiriza olw'ekibiina, ne balinnya waggulu ku nju, ne bamuyisa mu matoffaali ne bamussiza ku kitanda kye wakati mu maaso ga Yesu. 20Awo bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba nti, “ Omuntu, ebibi byo bikuggiddwako.” 21Abawandiisi n'Abafalisaayo ne batandika okuwakana bokka n'abokka, nga bagamba nti, “ Ani ono ayogera eby'okuvvoola? Ani ayinza okuggyako ebibi, wabula Katonda yekka?”#Luk 7:49, Is 43:25, Yok 5:12 22Naye Yesu bwe yategeera okuwakana kwabwe n'addamu n'abagamba nti, “ Muwakana ki mu mitima gyammwe? 23Ekyangu kiruwa, okugamba nti Ebibi byo bikuggiddwako; oba okugamba nti Golokoka, otambule? 24Naye mutegeere nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi.” N'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “ Nkugamba yimuka, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.” 25Amangwago n'ayimuka, bonna nga balaba, n'asitula ekitanda kye yali agalamiddeko, n'agenda ewuwe, ng'agulumiza Katonda. 26Okuwuniikirira ne kubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; ne batya nnyo, ne bagamba nti, “ Tulabye eby'ekitalo leero.”
Yesu ayita Leevi
(Mat 9:9-13, Mak 2:13-17)
27Awo oluvannyuma lw'ebyo n'avaayo n'alaba omuwooza erinnya lye Leevi,#5:27 Leevi Leevi era yayitibwa Matayo. ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti, “Yita nange.” 28N'aleka byonna, n'asituka, n'ayita naye. 29Leevi n'afumbira Yesu embaga nnene mu nnyumba ye: era waaliwo ekibiina kinene eky'abawooza n'eky'abalala abaali batudde nabo ku mmere.#Luk 15:1 30Abafalisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be, nga bagamba nti, “ Kiki ekibaliisa n'okunywera awamu n'abawooza n'abantu abalina ebibi?” 31Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Abalamu tebeetaaga musawo; wabula abalwadde. 32Nze sajja kuyita batuukirivu wabula abantu abalina ebibi okwenenya.”
Yesu ayogera ku kusiiba
(Mat 9:14-17, Mak 2:18-22)
33Nabo ne bamugamba nti, “ Abayigirizwa ba Yokaana basiiba emirundi mingi, era basaba; era n'ab'Abafalisaayo bwe batyo bwe bakola; naye ababo balya, era banywa.”#Mat 9:14-17, Mak 2:18-22 34Yesu n'abagamba nti, “ Kale muyinza okusiibya abaana b'obugole, awasizza omugole bw'aba ng'ali nabo? 35Naye ennaku zirijja; awo awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba mu nnaku ezo.” 36Era n'abagerera olugero nti, “ Tewali muntu ayuza ku lugoye oluggya ekiwero n'akitunga mu lugoye olukadde; kuba bw'akola bwatyo, ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde era n'ekiwero ky'ayuza ku lugoye oluggya tekifaanana na lugoye lukadde. 37So tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde; kubanga omwenge omusu gwabya ensawo ez'amaliba, ne guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana. 38Naye kigwana omwenge omusu okugufuka mu nsawo ez'amaliba empya. 39So tewali muntu anywedde ku mwenge omukulu ayagala omuto; kubanga agamba nti, ‘ Omukulu gwe mulungi.’ ”

Айни замон обунашуда:

Lukka 5: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy