Lukka 2

2
Okuzaalibwa kwa Yesu
(Mat 1:19-25)
1Awo olwatuuka mu nnaku ezo etteeka ne liva eri Kayisaali Augusito abantu ab'ensi zonna okwewandiisa. 2Okwo kwe kwewandiisa okwasooka okubaawo Kuleniyo bwe yali nga y'afuga Obusuuli. 3Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga gy'asibuka. 4Ne Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Ggaliraaya, n'agenda e Buyudaaya, mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Besirekemu kubanga yali wa mu nnyumba era wa mu kika kya Dawudi, 5ye wandiise ne Malyamu, gwe yali ayogereza, era ng'ali lubuto.#Luk 1:27 6Awo olwatuuka baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka. 7N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaafuna kifo mu kisulo ky'abagenyi.#Mat 1:25
Bamalayika bategeeza abasumba okuzaalibwa kwa Yesu
8Waaliwo abasumba mu nsi eyo abaasulanga ku ttale, nga bakuuma ekisibo kyabwe ekiro mu mpalo. 9Awo malayika wa Mukama n'ayimirira we baali, n'ekitiibwa kya Mukama ne kibeetooloola nga kimasamasa, ne batya nnyo. 10Malayika n'abagamba nti, “ Temutya; kubanga, laba, mbaleetera ebigambo ebirungi eby'essanyu eringi eririba eri abantu bonna: 11kubanga leero azaaliddwa gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi, ye Kristo Mukama waffe. 12Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: munaalaba omwana omuwere ng'abikkiddwa mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.”
13Awo amangwago waaliwo ne malayika oyo bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu nga batendereza Katonda, nga bagamba nti, #Dan 7:10
14“Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo;
Ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.”#Luk 19:38, Is 57:19, Bef 2:14,17
15Awo olwatuuka, bamalayika bwe baava gye baali okugenda mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti, “ Kale tugende e Besirekemu tulabe ekintu kino ekibaddewo, Mukama ky'atutegeezezza.” 16Ne bagenda mangu, ne balaba Malyamu ne Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu kisibo. 17Awo bwe baalaba, ne bategeeza ekigambo kye baabuulirwa ku mwana oyo.#Luk 2:10-12 18Bonna abaawulira ne beewuunya ebyo abasumba bye baababuulira. 19Naye Malyamu ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna, ng'abirowooza mu mutima gwe.#Luk 2:51 20Awo abasumba ne baddayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonna bye baawulira, ne bye baalaba, nga bwe byabaabuulirwa.
21Awo ennaku omunaana bwe zaatuuka ez'okumukomoleramu, n'atuumibwa erinnya lye Yesu, liri eryayogerwa malayika nga tannaba kuba mu lubuto.#Luk 1:31,59, Leev 12:3
Yesu atwalibwa mu Yeekaalu
22Awo ennaku ez'okulongooka kwabwe bwe zaatuuka ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne batwala Yesu ne bamwambusa e Yerusaalemi, okumwanjulira Mukama#Leev 12:1-8 23nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama nti, “ Buli kisajja ekiggulanda kinaayitibwanga kitukuvu eri Mukama.”#Kuv 13:2,12,15 24n'okuwaayo ssaddaaka nga bwe kyayogerwa mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyiba obuto bubiri.#Leev 5:11; 12:8 25Era, laba, waaliwo omuntu mu Yerusaalemi erinnya lye Simyoni, omuntu oyo yali mutuukirivu, era atya Katonda, ng'alindirira okununulibwa kwa Isiraeri: era Omwoyo Omutukuvu yali ku ye.#Is 40:1; 49:13 26Oyo Omwoyo Omutukuvu yali amubikkulidde nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo wa Mukama. 27Awo Simyoni n'ajjira mu Mwoyo mu Yeekaalu: abakadde bwe baayingiza omwana Yesu mu Yeekaalu okumukola nga bw'eri empisa y'amateeka. 28Awo Simyoni n'asitula omwana mu mikono gye, ne yeebaza Katonda n'agamba nti,
29“Mukama wange, kaakano siibula omuddu wo
Emirembe, ng'ekigambo kyo bwe kyali;
30Kubanga amaaso gange galabye obulokozi bwo,#Is 40:5; 52:10
31Bwe wateekateeka mu maaso
g'abantu bonna:
32Okuba omusana ogw'okumulisa amawanga
N'okuba ekitiibwa ky'abantu bo Isiraeri.”#Is 42:6; 49:6
33Kitaawe ne nnyina ne beewuunyanga ebigambo ebyo ebyamwogerwako; 34awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'agamba Malyamu nnyina nti, “ Laba, ono ateekeddwawo bangi mu Isiraeri bagwenga n'abalala bayimirirenga, n'okuba akabonero akavumibwa; 35era ggwe ekitala kirikufumita mu mmeeme; ebirowoozo eby'emitima emingi biryoke bibikkulwe.” 36Awo waaliwo Ana, nnabbi omukazi, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri era yali mukazi mukadde, yafumbirwa nga muwala muto, n'abeera ne bba emyaka musanvu, 37naye yali nnamwandu nga yaakamala emyaka kinaana mu ena (84), era teyavanga mu Yeekaalu, ng'asinza n'okusiibanga n'okwegayiriranga ekiro n'emisana. 38Oyo bwe yajja mu kiseera ekyo ne yeebaza Katonda, n'abuulira ebigambo bye eri bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi. 39Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebiri mu mateeka ga Mukama, ne baddayo e Ggaliraaya, mu kibuga ky'ewaabwe e Nazaaleesi.
Omwana Yesu mu Yeekaalu
40Awo omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi, n'ajjuzibwa amagezi: ekisa kya Katonda ne kibanga ku ye.
41Awo bakadde be baagendanga e Yerusaalemi buli mwaka ku mbaga ey'Okuyitako. 42Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n'ebiri, ne bambuka e Yerusaalemi nga empisa y'embaga bwe yali: 43awo bwe baali baddayo ewaabwe, ng'ennaku ez'Embaga ziweddeko, omwana oyo Yesu n'asigala mu Yerusaalemi, naye bakadde be ne batamanya: 44naye bwe baamala okutambula olugendo lwa lunaku lulamba, nga balowooza ng'ali mu kisinde kyabwe, olwo ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe: 45bwe bataamulaba ne baddayo e Yerusaalemi, nga bamunoonya. 46Awo olwatuuka bwe waayitawo ennaku ssatu ne bamusanga mu Yeekaalu, ng'atudde wakati mu bayigiriza, ng'abawuliriza, era ng'ababuuza: 47bonna abaamuwulira ne bawuniikirira olw'amagezi ge n'okuddamu kwe. 48Awo bwe baamulaba ne basamaalirira: nnyina n'amugamba nti, “ Mwana wange, lwaki otukoze bw'otyo? laba, kitaawo nange twakunoonya nga tunakuwadde.” 49N'abagamba nti, “ Mwannoonyeza ki? Temwamanya nga kiŋŋwanidde okubeera mu bigambo bya Kitange?”#Yok 2:16 50Ne batategeera kigambo ekyo kye yabagamba. 51N'aserengeta nabo n'ajja e Nazaaleesi, n'abagonderanga: nnyina ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna mu mutima gwe.
52Awo Yesu ne yeeyongerangako amagezi n'okukula, n'okuganja eri Katonda n'eri abantu.#1 Sam 2:26, Nge 3:4

Айни замон обунашуда:

Lukka 2: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy