Lukka 12

12
Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafalisaayo
(Mat 10:26-27)
1Mu biro ebyo abantu b'ekibiina nkumi n'ankumi bwe baali bakuŋŋaanye n'okulinnyaganako ne balinnyaganako, Yesu n'asookera ku bayigirizwa be n'abagamba nti, “ Mwekuumenga ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo, bwe bunnanfuusi.#Mat 16:6, Mak 8:15 2#Mat 10:26-33Naye tewali ekyabikkibwa ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakisibwa ekitalitegeerwa.#Luk 8:17 3Kale byonna bye mwali mwogeredde mu kizikiza biriwulirirwa mu musana; n'ekyo kye mwali mwogedde mu kaama mu bisenge kiribuulirirwa ku kasolya k'ennyumba.”
Temutya abatta omubiri
(Mat 10:28-31)
4 “Era mbagamba mmwe, mikwano gyange, nti Temutyanga abo abatta omubiri, oluvannyuma nga tebalina kigambo kisingawo kye bayinza kukola. 5Naye nnaabalabula gwe munaatyanga: Mutyenga oyo, bw'amala okutta alina obuyinza okusuula mu Ggeyeena, weewaawo, mbagamba nti Oyo gwe muba mutyanga. 6Enkazaluggya ettaano tebazitundamu mapeesa abiri? Naye tewali n'emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda. 7Naye n'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zibaliddwa zonna. Temutyanga: mmwe muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.”#Luk 21:18
Obukulu bw'okwatula Yesu Kristo
(Mat 10:32-33; 12:32; 10:19-20)
8 “Era mbagamba nti Buli alinjatulira mu maaso g'abantu, oyo Omwana w'omuntu naye alimwatulira mu maaso ga bamalayika ba Katonda; 9naye anneegaanira mu maaso g'abantu alyegaanirwa mu maaso ga bamalayika ba Katonda.#Luk 9:26 10Na buli muntu ayogera ekigambo ku Mwana w'omuntu kirimusonyiyibwa: naye oyo avvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa.#Mat 12:32, Mak 3:28,29 11Era bwe babatwalanga mu makuŋŋaaniro n'eri abaamasaza, n'abalina obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaddamu oba kye munaayogera;#Luk 21:14,15, Mat 10:19,20 12kubanga Omwoyo Omutukuvu anaabayigirizanga mu kiseera ekyo ebibagwanidde okwogera.”
Olugero lw'omugagga omusirusiru
13Awo omuntu omu ow'omu kibiina n'amugamba nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by'obusika bwaffe.” 14Naye ye n'amugamba nti, “Omuntu, ani eyanzisaawo okuba omulamuzi oba omugabi w'ebyobusika byammwe?”#Bik 7:27 15N'abagamba nti, “Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo.”#1 Tim 6:9,10 16N'abagerera olugero ng'agamba nti, “ Waaliwo omuntu omugagga, ennimiro ye n'eyeza: 17n'alowooza munda mu ye ng'agamba nti Nnaakola ntya, kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange? 18N'agamba nti Nnaakola bwe nti: nnaamenya amawanika gange ne nzimba amalala agasinga obunene; ne nkuŋŋaanyiza omwo emmere yange enkalu yonna n'ebintu byange. 19Ndigamba emmeeme yange nti Emmeeme, olina ebintu bingi ebiterekeddwa eby'emyaka emingi; wummula, olye, onywe, osanyuke. 20Naye Katonda n'amugamba nti Musiru ggwe, mu kiro kino emmeeme yo banaagikuggyako; kale ebintu by'otegese binaaba by'ani?#Beb 9:27 21Bw'atyo bw'ali eyeeterekera obugagga, so nga si mugagga eri Katonda.”#Mat 6:20
Temweraliikiriranga
(Mat 6:25-34)
22N'agamba abayigirizwa be nti, “ Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya; newakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala.#Mat 6:25-33 23Kubanga obulamu businga emmere, n'omubiri gwa muwendo okusinga eby'okwambala. 24Mulowooze bannamuŋŋoona, tebasiga so tebakungula; tebalina tterekero, newakubadde eggwanika; naye Katonda abaliisa; mmwe temusinga nnyonyi mirundi mingi?#Zab 147:9 25Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku bulamu bwe? 26Kale bwe mutayinza kukola ekisinga obutono, kiki ekibeeraliikiriza ebirala? 27Mulabe amalanga bwe gamera: tegakola mulimu so tegalanga lugoye; naye mbagamba nti Ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambalanga ng'erimu ku go. 28Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'oku ttale, ogubaawo leero, enkya nga bagusuula ku kikoomi; talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono? 29Nammwe temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, so temubanga na myoyo egibuusabuusa. 30Kubanga ebintu ebyo byonna binoonyezebwa amawanga ag'ensi: naye Kitammwe amanyi nga mwetaaga ebyo. 31Naye munoonye obwakabaka bwe, n'ebintu ebyo mulibyongerwako.”
Obugagga mu Ggulu
(Mat 6:19-21)
32 “Totyanga, ggwe ekisibo ekitono; kubanga Kitammwe asiima okubawa mmwe obwakabaka. # Luk 22:29, Is 41:14 33#Mat 6:20,21Mutundenga bye muli nabyo, muwengayo eby'okusaasira; mwetungirenga ensawo ezitakaddiwa, obugagga obutaggwaawo mu ggulu; omubbi gy'atasembera, n'ennyenje gye zitayonoonera.#Luk 18:22 34Kubanga obugagga bwammwe gye buli, n'emitima gyammwe gye giribeera.”
Abaddu abalindirira mukama waabwe
35 # Mat 24:42-51 “Mwesibenga ebimyu mu biwato byammwe, n'ettaala zammwe nga zaaka; # Kuv 12:11, 1 Peet 1:13 36nammwe bennyini mubeerenga ng'abantu abalindirira mukama waabwe, w'aliddira ng'ava ku mbaga ey'obugole; bw'alijja n'akoona ku luggi, bamuggulirewo amangwago.#Mat 25:1-13 37Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe bw'alijja b'alisanga nga batunula; mazima mbagamba ng'alyesiba n'abatuuza ku mmere, n'ajja n'abaweereza.#Yok 13:4 38Awo bw'alijja mu kisisimuka eky'okubiri, oba mu ky'okusatu, n'abasanga bw'atyo, balina omukisa abaddu abo. 39Naye mutegeere kino, nga nnannyini nnyumba singa amanya ekiseera omubbi w'anajjira, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.#1 Bas 5:2 40Nammwe mweteeketeekenga: kubanga Omwana w'omuntu ajjira mu kiseera mwe mutalowooleza.”
Omuwanika omwesigwa n'atali mwesigwa
(Mat 24:45-51)
41Peetero n'agamba nti, “ Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe, nantiki olugeredde bonna?” 42Mukama waffe n'agamba nti, “ Kale ani oyo omuwanika omwesigwa ow'amagezi, mukama we gw'alisigira ab'omu nnyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo?#2 Tim 2:15 43Alina omukisa omuddu oyo mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo. 44Mazima mbagamba ng'alimusigira byonna by'ali nabyo.#Mat 25:21 45Naye omuddu oyo bw'alyogera mu mutima gwe nti Mukama wange aludde okujja; n'atandika okukuba abaddu n'abazaana, n'okulya n'okunywa n'okutamiira; 46kale mukama w'omuddu oyo alijja ku lunaku lw'atamulowoolezaako, ne mu kiseera ky'atamanyi, alimutemaatema alimuwa omugabo gwe wamu n'abatakkiriza. 47N'omuddu oyo eyamanya mukama we kye yayagala, kyokka n'atategeka n'atatuusa kye yayagala, alikubwa mingi;#Yak 4:17 48naye ataamanya n'akola ebisaanidde okumukubya, alikubwa mitono; na buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.”
Si mirembe naye kwawukanya
(Mat 10:34-36)
49 “Najja kukoleeza muliro ku nsi; nagwo oba nga kaakano gwaka, njagala ki? 50Naye nnina okubatizibwa kwe ndibatizibwa; nange nga mbonaabona okutuusa lwe kulituukirizibwa!#Mat 20:22; 26:38, Yok 12:27 51Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbagamba nti Nedda; wabula okwawukana obwawukanyi;#Mat 10:34-36 52kubanga okutandika kaakano walibaawo bataano mu nnyumba emu nga baawukanye, abasatu n'ababiri, era ababiri n'abasatu. 53Balyawukana, kitaawe n'omwana we, era omwana ne kitaawe; nnyina ne muwala we, era omuwala ne nnyina; era nnyazaala ne muka mwana we, era muka mwana we ne nnyazaala we.”#Mi 7:6
Okutegeera ekiseera
(Mat 16:2-3)
54Yesu n'agamba ebibiina nti, “ Bwe mulaba ekire nga kyekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti Enkuba eneetonnya; era bwe kiba bwe kityo.#Mat 16:2,3 55Bwe mulaba empewo ng'efuluma e bukiikaddyo mugamba nti, ‘ Linaaba bbugumu;’ era bwe kiba. 56Bannanfuusi, mmwe mumanyi okukebera ekifaananyi ky'ensi n'eggulu; naye kiki ekibalobera okumanya n'okukebera obudde buno?”
Okutegeragana n'omulabe wo
(Mat 5:25-26)
57 “Era nammwe mwekka ekibalobera okusalawo ekituufu kiki? 58Kubanga bw'oba ogenda n'akuloopa eri omulamuzi, onyiikiriranga mu kkubo okutabagana n'akuvunaana; aleme okukutwala ewa katikkiro, ne katikkiro n'akuwa omumbowa, n'omumbowa n'akusuula mu kkomera.#Mat 5:25,26 59Nkugamba nti Toliva omwo n'akatono, okutuusa lw'olisasulirira ddala buli ssente.”

Айни замон обунашуда:

Lukka 12: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy