Yokaana 18

18
Okukwatibwa kwa Yesu
(Mat 26:46-56, Mak 14:43-50, Luk 22:47-53)
1Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n'afuluma n'abayigirizwa be ne basomoka akagga Kidulooni, eyali olusuku, n'agenda omwo ye n'abayigirizwa be.#Mat 26:36, Mak 14:32, Luk 22:39, 2 Sam 15:23 2#Mat 26:47-56, Mak 14:43-52, Luk 22:47-53 Era ne Yuda amulyamu olukwe, yali amanyi ekifo ekyo: kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi n'abayigirizwa be.#Luk 21:37 3Awo Yuda, bwe yamala okuweebwa ekitongole ky'abaserikale n'abaami okuva eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo, n'ajja mu lusuku ng'alina ettabaaza, n'emimuli, n'amafumu. 4Awo Yesu bwe yamanya ebigambo byonna ebinaamujjira, n'avaayo n'abagamba nti, “Munoonya ani?”#Yok 19:28 5Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunazaaleesi.” Yesu n'abagamba nti, “Nze nzuuno.” Era ne Yuda, amulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. 6Awo bwe yabagamba nti, “Nze nzuuno,” ne badda emabega ne bagwa wansi. 7Ate n'ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne bagamba nti, “Yesu Omunazaaleesi.” 8Yesu n'addamu nti, “Mbabuulidde nti nze nzuuno; kale oba nga munoonya nze, muleke bano bagende.” 9Ekigambo kino kyali kituukiriza kye yayogera nti, “Ku abo be wampa saabuzaako n'omu.”#Yok 17:12 10Awo Simooni Peetero eyalina ekitala n'akisowola n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo. N'erinnya ly'omuddu Maluko. 11Awo Yesu n'agamba Peetero nti, “Zzaamu ekitala mu kiraato kyakyo; ekikompe Kitange ky'ampadde, siikinywe?”#Mat 26:39
Yesu mu maaso ga Ana
12Awo ekitongole ky'abaserikale, n'omwami waabwe omukulu, n'abaweereza b'Abayudaaya ne bakwata Yesu ne bamusiba,#Mat 26:57-75, Mak 14:53-72, Luk 22:54-71 13ne basooka okumutwala eri Ana; kubanga yali mukoddomi wa Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka guli. 14Era Kayaafa oyo ye yawa Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira abantu.#Yok 11:49,50
Peetero yeegaana Yesu
(Mat 26:69-70, Mak 14:66-68, Luk 22:55-57)
15Simooni Peetero n'omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu. Awo omuyigirizwa oli yali amanyiddwa kabona asinga obukulu, n'ayingira ne Yesu mu luggya lwa kabona asinga obukulu;#Yok 20:3; 21:20, Bik 3:1 16naye Peetero n'asigala ng'ayimiridde ebweru ku luggi. Awo omuyigirizwa oyo omulala eyali amanyiddwa kabona asinga obukulu n'afuluma n'ayogera n'omuwala omuggazi w'oluggi, n'ayingiza Peetero. 17Awo omuwala oyo omuggazi w'oluggi n'agamba Peetero nti, “Naawe oli wa mu bayigirizwa ba muntu ono?” Peetero n'addamu nti, “Nedda siri.” 18Abaddu n'abaweereza baali bayimiridde awo nga bakumye omuliro gw'amanda; kubanga yali mpewo; ne boota omuliro: ne Peetero naye yali nabo ng'ayimiridde ng'ayota omuliro.
Kabona asinga obukulu abuuza Yesu ebibuuzo
(Mat 26:59-66, Mak 14:55-64, Luk 22:66-71)
19Awo kabona asinga obukulu n'abuuza Yesu ku by'abayigirizwa be, n'eby'okuyigiriza kwe. 20Yesu n'amuddamu nti, “Nze nnabuuliranga lwatu ensi; bulijjo nnayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, mwe bakuŋŋaanira Abayudaaya bonna; soogeranga mu kyama kigambo na kimu.#Yok 7:14,26, Mat 10:27 21Ombuuliza ki? Buuza abampuliranga, bye nnabagamba: laba, abo bamanyi nze bye nnayogera.” 22Bwe yayogera ebyo omu ku baweereza eyali amuyimiridde okumpi n'akuba Yesu oluyi n'agamba nti, “Oddamu otyo kabona asinga obukulu?”#Yok 19:3, Bik 23:2 23Yesu n'amuddamu nti, “Oba njogedde bubi, kinnumirize ekibi: naye oba kirungi, onkubira ki?” 24Awo Ana n'amuweereza nga musibe eri Kayaafa kabona asinga obukulu.
Peetero ayongera okwegaana Yesu
(Mat 26:71-75, Mak 14:69-72, Luk 22:58-62)
25Ne Simooni Peetero yali ayimiridde ng'ayota omuliro. Awo ne bamugamba nti, “Naawe oli wa mu bayigirizwa be?” Ye ne yeegaana n'agamba nti, “Siri waamu.” 26Omu ku baddu bakabona asinga obukulu ow'ekika ky'oyo Peetero gwe yasalako okutu, n'agamba nti, “Nze saakulabye naye mu lusuku muli?” 27Peetero ne yeegaana nate; amangu ago enkoko n'ekookolima.
Yesu mu maaso ga Piraato
(Mat 27:1-2,11-14, Mak 15:1-5, Luk 23:1-5)
28Ne baggya Yesu eri Kayaafa, ne bamutwala mu kigango: era bwali bukya; bo bennyini ne batayingira mu kigango, baleme okweyonoona, naye bamale okulya Okuyitako. 29Awo Piraato n'afuluma n'agenda gye baali, n'agamba nti, “Musango ki gwe mulanze omuntu ono?” 30Ne baddamu ne bamugamba nti, “Omuntu ono singa abadde takoze bubi, tetwandimuleese gy'oli.” 31Awo Piraato n'abagamba nti, “Kale mumutwale mmwe mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali.” Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tekyatulagirwa kutta muntu yenna;”#Yok 19:6,7 32ekigambo kya Yesu kituukirizibwe, kye yayogera, ng'alaga okufa kw'agenda okufa bwe kuli.#Yok 12:32,33, Mat 20:19
33Awo Piraato n'ayingira nate mu kigango, n'ayita Yesu n'amugamba nti, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” 34Yesu n'addamu nti, “Kino okyogedde ku bubwo nantiki balala be bakubuulidde ebigambo byange?”#Mat 16:13 35Piraato n'addamu nti, “Nze ndi Muyudaaya? Ab'eggwanga lyammwe ne bakabona abakulu be bakundeetedde: okoze ki?”#Yok 1:11, Mat 21:39 36Yesu n'addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.” 37Awo Piraato n'amugamba nti, “Kale ggwe kabaka?” Yesu n'addamu nti, “Oyogedde, kubanga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulira eddoboozi lyange.”#1 Tim 6:13, Yok 8:47; 10:27 38Piraato n'amugamba nti, “Amazima kye ki?”
Yesu asalirwa ogw'okufa
(Mat 27:15-31, Mak 15:6-20, Luk 23:13-25)
Piraato bwe yamala okwogera ebyo, n'afuluma nate n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti, “Siraba musango ku ye. 39Naye mulina empisa, nze okubateeranga omu ku Kuyitako: kale mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?” 40Awo ne bakaayana, ne bagamba nti, “Si ono, wabula Balaba.” N'oyo Balaba yali munyazi.

Айни замон обунашуда:

Yokaana 18: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in