Yokaana 17
17
Yesu asabira abayigirizwa be ku kyekiro eky'enkomerero
1Yesu bwe yamala okwogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti, “Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize,#Yok 11:41; 13:1 2nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo.#Mat 11:27 3Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo.#1 Yok 5:20, 1 Bas 1:9 4Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza.#Yok 4:34 5Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo.#Yok 1:1; 17:24, Baf 2:6 6Njolesezza erinnya lyo mu bantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo.#Yok 17:9, Mat 6:9 7Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe, 8kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babikkiriza, ne bategeera mazima nga nnava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma.#Yok 16:30 9Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula abo be wampa; kubanga babo;#Yok 6:37,44 10era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo.#Yok 16:15, Luk 15:31 11Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe. 12Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo; era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire.#Yok 6:39, Zab 41:9; 109:8, 2 Bas 2:3 13Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.#Yok 15:11 14Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi.#Yok 15:18, Mat 6:13, Luk 22:32 15Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. 16Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. 17Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima,#Yok 6:63 18Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi.#Yok 20:21 19Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima.#Beb 10:10 20So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe;#Yok 17:9 21bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma.#Bag 3:28 22Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu;#Bik 4:32 23nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze.#1 Kol 10:29; 12:26, Bef 1:4 24Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa. 25Kitange Omutuukirivu, ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma; 26era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.”
Айни замон обунашуда:
Yokaana 17: LBR
Лаҳзаҳои махсус
Паҳн кунед
Нусха
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: