Yokaana 15
15
Yesu ye gwe muzabbibu ogw'amazima
1 “Nze muzabbibu ogw'amazima, ne Kitange ye mulimi. #
Yer 2:21, Zab 80:8 2Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo, na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala.#Mat 15:13 3Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw'ekigambo kye mbagambye. 4Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera ku muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. 5Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola.#1 Kol 12:12,27, 2 Kol 3:5 6Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaanya, bagasuula mu muliro, ne gaggya.#Mat 3:10; 13:40 7Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga.#Mak 11:24 8Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange.#Mat 5:16 9Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. 10Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.#Yok 8:29; 14:15, 1 Yok 2:4,8 11Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mu mmwe, era essanyu lyammwe lituukirire.#Yok 17:13 12Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe.#Yok 13:34, 1 Yok 3:11, Mak 12:30 13Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.#Yok 10:12, 1 Yok 3:16 14Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira.#Yok 8:31, Mat 12:50; 28:20 15Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanya mukama we by'akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe. 16Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, anaakibawanga. #Yok 6:70; 13:18 17Mbalagidde bino, mwagalanenga.”
Obukyayi bw'Ensi
18 “Ensi bw'ebakyawanga mumanye nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe. #
Yok 7:7, 1 Yok 3:13 19Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa.#1 Yok 4:5, Yok 17:14, Luk 6:22 20Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjiggannya nze, nammwe banaabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe banaakikwatanga.#Yok 13:16, Mat 10:24 21Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'erinnya lyange, kubanga tebamumanyi eyantuma.#Yok 16:3, Mat 5:11; 10:22, Mak 13:13 22Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw'ekibi kyabwe. 23Ankyawa nze akyawa ne Kitange.#Yok 5:23, 1 Yok 2:23, Luk 10:16 24Singa saakolera mu bo mirimu egitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi; naye kaakano balabye ne bankyawa ne Kitange.#Yok 14:11 25Naye ekigambo kituukirire ekyawandiikibwa mu mateeka gaabwe nti Bankyayira bwereere.#Zab 35:19; 69:4 26Naye Omubeezi bw'alijja, gwe ndibatumira ava eri Kitange, Omwoyo ow'amazima, ava eri Kitange, oyo alitegeeza ebyange:#Yok 14:26, Luk 24:49 27era nammwe mutegeeza ebyange kubanga okuva ku lubereberye mwali nange.”#Luk 1:2, Bik 1:8; 5:32
Айни замон обунашуда:
Yokaana 15: LBR
Лаҳзаҳои махсус
Паҳн кунед
Нусха

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: