Yokaana 14
14
Yesu ye ly'ekkubo eritutuusa ewa Kitaffe
1 “Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize. #
Yok 14:27, Mak 11:22 2Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. 3Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.#Yok 12:26; 17:24 4Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.” 5Tomasi n'amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda; ekkubo tulimanyi tutya?” 6Yesu n'amugamba nti, “Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.#Beb 10:20, Mat 11:27, Yok 11:25, Bar 5:1,2 7Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mumutegeera era mumulabye.” 8Firipo n'amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kale kinaatumala.” 9Yesu n'amugamba nti, “Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti tulage Kitaffe?#Yok 12:45, Beb 1:3, Mat 17:17 10Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye.#Yok 12:49 11Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze: oba munzikirize olw'emirimu gyokka.#Yok 14:20, Yok 10:25,38 12Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola; era alikola egisinga egyo obunene; kubanga nze ŋŋenda eri Kitange.#Mak 16:19,20 13Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana.#Yok 15:7, Mak 11:24, 1 Yok 5:14 14Bwe munaasabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.”#Yok 16:23,24
Okusuubiza Omwoyo Omutukuvu
15 “Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. #
Yok 15:10, 1 Yok 5:3 16Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe.#Yok 14:26; 15:26; 16:7, 1 Yok 2:1 17Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe.#Yok 7:39; 16:13, Mat 10:20, Bar 8:26 18Siribaleka bamulekwa; nkomawo gye muli. 19Esigadde ekiseera kitono, ensi obutandaba nate; naye mmwe mundaba: kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu.#Yok 16:16 20Ku lunaku olwo mulitegeera mmwe nga nze ndi mu Kitange, era nga nammwe muli mu nze, ate nga nange ndi mu mmwe.#Yok 17:21-23 21Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga.”#2 Kol 3:18, 1 Yok 5:3 22Yuda (atali Isukalyoti) n'amugamba nti, “Mukama waffe, kibadde kitya ggwe okugenda okutulabikira ffe, so si eri ensi?”#Bik 10:41 23Yesu n'amuddamu n'amugamba nti, “Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali.#Yok 13:34; 14:21, Nge 8:17, Mat 18:20; 28:20, Bef 3:17, 2 Kol 6:16 24Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma.”#Yok 7:16, 1 Yok 2:5
25 “Ebigambo ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. 26Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.#Yok 14:16, Mat 10:19 27Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.#Yok 14:1; 16:23, Baf 4:7 28Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu.#Yok 14:3,6,18 29Kaakano mbagambye nga tekinnaba kubaawo, lwe kiribaawo mulyoke mukkirize.#Yok 13:19 30Sikyayogera nnyo nate nammwe; kubanga afuga ensi ajja: naye tandiiko kigambo;#Yok 12:31, Bef 2:2 31naye ensi etegeerenga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.”#Yok 10:18, Mat 26:46, Mak 14:42
Айни замон обунашуда:
Yokaana 14: LBR
Лаҳзаҳои махсус
Паҳн кунед
Нусха

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: