Kaggayi Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kya Kaggayi kirimu obubaka Mukama bweyawa abantu ng'ayita mu nnabbi Kaggayi mu mwaka 520, nga Kristo tannazaalibwa. Abayudaaya bangi baali bavudde mu buwaŋŋanguse nga abakulembeze bali bulungi naye nga abantu abalala batuyana okwebezaawo. Katonda yayolesa Kaggayi nti ensonga evaako bino lwakuba nga Yeekaalu yali tennazimbibwa. Obutasaamu Katonda kitiibwa nga bazimba Yeekaalu, bwali bulaga nti ne Katonda tebamusaamu kitiibwa. Obubaka bukubiriza abakulembeze b'abantu okuzimba obuggya Yeekaalu, era Mukama asuubiza abantu be abeetukuuzizza n'okwezza obuggya okubawa ebirungi n'emirembe.
Ebiri mu kitabo
I. Obutafaayo kuzimba nnyumba ya Mukama (1:1-2).
II. Mulowooze amakubo gammwe (1:3-12).
III. Ekisuubizo n'okugenda mu maaso (1:13-15).
IV. Ekitiibwa ekyasooka n'eky'oluvannyuma eky'ennyumba (2:1-9).
V. Okwenenya n'omukisa (2:10-19).
VI. Mukama bye yasuubiza Zerubbaberi (2:20-23).

Айни замон обунашуда:

Kaggayi Ennyanjula: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in