Kaggayi 1

1
Obutafaayo kuzimba nnyumba ya Mukama (1:1-2)
1Mu mwaka ogwokubiri ogwa Daliyo kabaka w'e Buperusi, mu mwezi ogw'omukaaga, ku lunaku olw'omwezi olwolubereberye, ekigambo kya Mukama ne kijja okuyita mu Kaggayi nnabbi, eri Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda n'eri Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nga kyogera nti,#Ezer 4:24; 5:1,2 2Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Abantu bano boogera nti ekiseera tekinnatuuka okuzimba ennyumba ya Mukama.”
Mulowooze amakubo gammwe (1:3-12)
3Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri nnabbi Kaggayi nga kyogera nti, 4“Kye kiseera mmwe bennyini okubeera mu nnyumba zammwe ezibikiddwako, ennyumba eno n'ebeererawo mu matongo?”#2 Sam 7:2, Is 64:11 5Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “ Mulowooze amakubo gammwe. 6Mwasiga bingi, ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye temukkuta bye munywa; mwambala naye tewali abuguma; n'oyo afuna empeera agifuna okugiteeka mu nsawo eyawummukawummuka.”#Kos 4:10, Mi 6:15, Zek 8:10 7Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Mulowooze amakubo gammwe. 8Mulinnye ku lusozi, muleete emiti, muzimbe ennyumba; nange ndigisanyukira, era ndigulumizibwa,” bw'ayogera Mukama.#Zab 132:13,14 9“Mwasuubira bingi, kale laba ne biba bitono; era bwe mwabireeta eka, ne mbifuumuula. Lwaki?” Bw'ayogera Mukama w'eggye. “Ogw'ennyumba yange ebeererawo mu matongo, nammwe muddukira buli muntu mu nnyumba ye. 10Kale ku lwammwe eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n'ettaka liziyizibwa okubala ebibala byalyo.#1 Bassek 8:35, Yer 5:24,25 11Ne mpita ekyanda okujja ku nsi, ne ku nsozi, ne ku ŋŋaano, ne ku mwenge ne ku mafuta, ne ku ebyo ettaka bye libala, ne ku bantu, ne ku nsolo ne ku mirimu gyonna egy'engalo.”#2 Bassek 8:1, Zab 105:16; 128:2, Kag 2:17 12Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu wamu n'abantu bonna abafisseewo, ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe n'ebigambo bya Kaggayi nnabbi nga Mukama Katonda waabwe bwe yamutuma; abantu ne batya mu maaso ga Mukama.
Ekisuubizo n'okugenda mu maaso (1:13-15)
13Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n'agamba abantu ng'asinziira mu bubaka bwa Mukama nti, “ Nze ndi wamu nammwe,” bw'ayogera Mukama.#Mal 1:1; 2:7; 3:1 14Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda, n'omwoyo gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n'omwoyo gw'abantu bonna abaali bafisseewo, ne bajja ne bakola omulimu mu nnyumba ya Mukama w'eggye Katonda waabwe,#Ezer 1:1; 5:8 15Ku lunaku olw'omwezi olw'abiri mw'ennya, mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka ogwokubiri, ogwa Daliyo kabaka.#Kag 1:1

Айни замон обунашуда:

Kaggayi 1: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in