Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe.
Laba, bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, n'amugamba nti, “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba, kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta.”