Matayo 2:1-2
Matayo 2:1-2 LBR
Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abasajja abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi, ne babuuza nti, “Kabaka w'Abayudaaya azaaliddwa ali ludda wa? Kubanga twalaba emmunyeenye ye mu buvanjuba, ne tujja okumusinza.”






