Tito 1
1
Okulamusa eyawandiikirwa ebbaluwa
1Pawulo, omuddu wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo, ng'okukkiriza kw'abalonde ba Katonda bwe kuli n'okutegeera amazima agali mu kutya Katonda, 2ebyesigamye mu kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda ow'amazima bwe yasuubiza ng'ebiro eby'emirembe n'emirembe tebinnabaawo; 3naye mu ntuuko zaabyo yayolesa ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri;#Bef 1:9,10, 1 Tim 1:1,11 4eri Tito, omwana wange ggeregere ng'okukkiriza kwaffe fenna bwe kuli; ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Omulokozi waffe bibeerenga gy'oli.#1 Tim 1:2
Tito okutereeza ebyali tebikoleddwako
5Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga, nga nze bwe nnakulagira; 6omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataloopebwa nga balalulalu oba abajeemu.#1 Tim 3:2-4 7Kubanga omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, ng'omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, si wa busungu, si mutamiivu, si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa;#1 Kol 4:1, 1 Peet 5:2, 2 Tim 2:24 8naye ayaniriza abagenyi, ayagala obulungi, eyeegendereza, mutuukirivu, mutukuvu, eyeefuga; 9anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaffe bwe kuli, alyoke ayinzenga okunyonnyola abantu enjigiriza entuufu, era n'okulaga obukyamu bwabo abagiwakanya.#2 Tim 2:1, 1 Tim 1:10, 2 Tim 4:3
Tito okuziyiza enjigiriza ey'obulimba
10Kubanga eriyo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, era okusingira ddala abo ab'omu bakomole, 11basaanye okuziyizibwa, kubanga abo be bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde, olw'amagoba ag'obukuusa.#Tit 3:6, Yok 10:12, 1 Peet 5:2 12Omu ku bo, era nnabbi waabwe bo, yagamba nti, “Abakuleete balimba ennaku zonna, zensolo embi, ba mululu era bagayaavu.” 13Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova oteekwa okubanenya n'amaanyi, balyoke babeere mu kukkiriza okutuufu,#2 Tim 4:2 14balekeraawo okuwuliriza enfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya n'ebiragiro by'abantu abakyama okuva ku mazima.#1 Tim 4:7 15Eri abalongoofu byonna birongoofu, naye eri abagwagwa n'abatakkiriza tewali kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigibwa obugwagwa.#Mat 15:11, Bar 14:20 16Baatula nga bamanyi Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana, kubanga bagwagwa era abatawulira era abatasiimibwa mu buli kikolwa kyonna ekirungi.#2 Tim 3:5
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.