Skip to content

Yoweeri 3

3
Mukama asalira amawanga omusango
1Kubanga, laba, mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bwe ndizzawo emikisa gya Yuda ne Yerusaalemi,#Yer 30:3 2ndikuŋŋaanya amawanga gonna ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yekosafaati, kale ndisinzira eyo ne mpolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaanyiriza mu mawanga ne bagabana Isiraeri ensi yange.#Yer 25:31, Zef 3:8 3Era bakubidde abantu bange obululu, baatunda omulenzi okusasulira omukazi omwenzi, ne batunda omuwala okugula omwenge, banywe.#Nak 3:10 4Kiki kyemuli gyendi mmwe Ttuulo ne Sidoni n'ebitundu byonna ebya Abafirisuuti? Mulina ekintu kye musasulira? Bwe muba mulina kye munsasula, nange ndyanguwa mangu okubeesasuza.#Is 23:1,2, Ez 25:15,16 5Kubanga mututte effeeza yange ne zaabu yange, era ne mutwala mu biggwa byammwe ebintu byange ebirungi eby'omuwendo.#2 Byom 21:16,17 6Mwatunda abantu abe Yuda n'abe Yerusaalemi eri Abayonaani, ne mubatwala ewala n'ensalo yaabwe. 7“Naye kaakano nja kubaggya gye mwabatunda, era nammwe ndyoke mbasasule ekyo kye mwabakola. 8Nditunda batabani bammwe ne bawala bammwe eri abantu ba Yuda, nabo balibaguza abasajja ab'e Seba, eggwanga eriri ewala; kubanga Mukama ya kyogedde.”
Katonda alagira Yuda ebikwata ku mawanga
9Mulangirire kino mu mawanga, mutegeke olutalo, muyite abasajja ab'amaanyi; abasajja bonna abalwanyi basembere, bambuke.#Yer 6:4 10Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n'ebiwabyo byammwe mubiweeseemu amafumu. Omunafu ayogere nti, “Ndi mulwanyi.”#Is 2:4 11Mwanguwe mujje, mmwe mwenna ab'amawanga ageetooloddewo mwekuŋŋaanyize eyo. Leeta gyetuli abalwanyi bo, ayi Mukama. 12Amawanga gasituke gaserengete mu kiwonvu kya Yekosafaati; kubanga eyo gye ndituula okusala omusango gw'amawanga gonna ageetooloddewo.#Zab 98:9; 110:6, Is 3:13 13Muteekeewo ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde. Muyingire, musambe, kubanga essogolero lijjudde. Amabanvu gayiika, kubanga obubi bwabwe bungi.#Is 63:2,3, Yer 51:33, Kos 6:11, Yok 4:35, Kub 14:15-20 14Oluggube, oluggube, lw'abantu bali mu kiwonvu omw'okusalirawo! Kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu omw'okusalirawo.#Yo 1:15; 2:10 15Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zireseeyo okwaka kwazo.
Katonda aliwa abantu be omukisa
16Awo Mukama awuluguma ng'asinziira mu Sayuuni, eddoboozi lye libwatukira mu Yerusaalemi, era eggulu n'ensi bikankana. Naye Mukama kiddukiro eri abantu be era ekigo eky'amaanyi eri abaana ba Isiraeri.#Is 25:4, Yer 25:30, Yo 2:11 17Bwe mutyo mulimanya nga nze Mukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu. Yerusaalemi kiriba kitukuvu, era tewaliba bannamawanga abalikiwangula nate.#Zab 48:1, Is 52:1, Yer 31:23, Ez 6:7, Nak 1:15, Zek 14:21, Kub 21:27; 22:15 18Awo olulituuka ku lunaku luli ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obusozi bulikulukuta amata, n'obugga bwonna obwa Yuda bulikulukuta amazzi; era oluzzi luliva mu nnyumba ya Mukama, ne lufukirira ekiwonvu Sittimu.#Is 30:25, Ez 47:1, Am 9:13 19Misiri erifuuka matongo, ne Edomu erifuuka ddungu eryalekebwawo, olw'obukambwe obwakolebwa ku bantu ab'omu Yuda, kubanga bayiwa omusaayi ogutaliiko musango mu nsi yaabwe.#Is 19:1-17; 34:5 20Naye Yuda alibeeramu abantu ennaku zonna, era ne Yerusaalemi okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna anaabanga bwatyo.#Zab 125:1,2, Ez 37:25 21Era ndiwoolera eggwanga olw'abo abattibwa, siritaliza bazziza musango, kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.#Is 4:4