Skip to content

Yakobo 5

5
Okulabula abagagga
1Kale nno mwe abagagga, mukaabe mulire olw'ennaku ezijja ku mmwe.#Luk 6:24 2Obugagga bwammwe buvunze, n'ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje.#Mat 6:19 3Ezaabu yammwe ne ffeeza zitalazze; n'obutalagge bwazo buliba mujulirwa gye muli, bulirya omubiri gwammwe ng'omuliro. Mwakuŋŋaanyiza ebintu mu nnaku ez'enkomerero.#Nge 16:27 4Laba, empeera y'abakozi abaakungula ennimiro zammwe, gye mulyazaamaanya, ekaaba, n'ebiwoobe by'abo abakungula byayingira mu matu ga Mukama Ow'eggye.#Leev 19:13, Mal 3:5, Ma 24:14, Is 5:9, Yob 31:38-40 5Mwesanyusa ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu; mugezzezza emitima gyammwe ku lunaku olw'okuttibwa. #Luk 16:19,25, Yer 12:3 6Mwasala omusango okusinga omutuukirivu, ne mumutta; naye n'atabawakanya.
Okugumiikiriza n'Okusaba
7Kale, ab'oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja kwa Mukama waffe. Laba, omulimi alindirira ebibala eby'ensi eby'omuwendo omungi, abigumiikiriza, okutuusa enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo.#Ma 11:14, Yo 2:23, Zek 10:1, Yer 5:24, Luk 21:19, Beb 10:36 8Era nammwe mugumiikirizenga; munywezenga emitima gyammwe, kubanga okujja kwa Mukama waffe kuli kumpi.#Beb 10:25, 1 Bas 2:16; 3:13 9Temwemulugunyanga, ab'oluganda, mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, laba, omusazi w'emisango ayimiridde ku luggi. 10Mutwale ekyokulabirako, ab'oluganda, eky'okubonyaabonyezebwa n'okugumiikiriza, okwa bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama.#Mat 5:12 11Laba, tubayita ba mukisa abaagumiikirizanga, mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw'akola, nga Mukama wa kisa kingi n'okusaasira.#Dan 12:12, Yob 1:21,22, Zab 103:8; 111:4
12Naye okusinga byonna, ab'oluganda, temulayiranga newakubadde eggulu, newakubadde ensi, newakubadde ekirayiro ekirala kyonna, naye ekigambo kyammwe weewaawo kibeerenga weewaawo, n'ekigambo kyammwe si weewaawo kibeerenga si weewaawo; muleme okugwa mu musango.#Mat 5:34-37
Okusaba kw'okukkiriza kuwonya
13Waliwo mu mmwe omuntu ali obubi? Asabenga. Waliwo asanyuka? Ayimbenga eby'okutendereza Katonda.#Zab 50:15, Bak 3:16 14Waliwo mu mmwe omuntu alwadde? Ayitenga abakadde b'ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe,#Mak 6:13 15n'okusaba kw'okukkiriza kulirokola omulwadde, ne Mukama waffe alimuyimusa; era oba nga yakola ebibi birimuggibwako.#Mak 16:18 16Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo. 17Eriya yali muntu eyakwatibwa byonna nga ffe, n'asaba nnyo enkuba ereme okutonnya; enkuba n'etatonnya ku nsi emyaka esatu n'emyezi mukaaga.#1 Bassek 17:1, Luk 4:25, Bik 14:15 18N'asaba nate; eggulu ne litonnyesa enkuba, ensi n'emeza ebibala byayo.#1 Bassek 18:42
Okumaliriza
19Ab'oluganda, omuntu yenna mu mmwe bw'akyamanga okuva mu mazima, omuntu n'amala amukyusa,#Bag 6:1 20ategeerenga ng'akyusa omwonoonyi okuva mu kkubo ekyamu, alirokola obulamu bwe mu kufa, era alibikka ku bibi bingi.#Zab 51:13, Nge 10:12, 1 Peet 4:8