Skip to content

Abaggalatiya 3

3
Okukubiriza Abaggalatiya
(3:1—5:12)
Abaggalatiya balina okuddamu amagezi
1Mmwe Abaggalatiya abasirusiru! Ani eyabaloga, so nga mwalagibwa mu lwatu Yesu Kristo eyakomererwa? 2Kino kyokka kye njagala okubabuuza: Mwaweebwa Omwoyo lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? 3Bwe mutyo bwe mutalina magezi? Abaasookera mu Mwoyo, kaakati mukomekerereza mu mubiri? 4Mwabonyaabonyezebwa ebyenkana awo bya bwereere? So nga ddala si bwereere. 5Abawa Omwoyo, akola eby'amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? 6Mulabe Ibulayimu “yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.” 7Kale mutegeere nti abantu abakkiriza be baana ba Ibulayimu.#Lub 15:6 8N'ekyawandiikibwa, kyalaba edda nti Katonda aliwa Ab'amawanga obutuukirivu lwa kukkiriza, Enjiri neesooka okubuulirwa Ibulayimu nti, “Mu ggwe amawanga gonna mmwe galiweerwa omukisa.”#Lub 12:3; 18:18, Bik 3:25 9Bwe kityo n'abo abali mu kukkiriza baweebwa omukisa Ibulayimu gwe yaweebwa bwe yakkiriza. #Bar 4:16 10Kubanga bonna abeesigama ku bikolwa by'amateeka, bali wansi wa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli ataatuukirizenga kukola byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka.” #Ma 27:26 11Era kaakano kimanyiddwa nti tewali Katonda gwawa butuukirivu olw'okukuuma amateeka; kubanga, “ Oyo ali mu kukkiriza ye mutuukirivu, yaliba omulamu.”#Kaab 2:4, Bar 1:17, Beb 10:38 12Naye amateeka go tegeesigama ku kukkiriza, “naye nti Omuntu agakola anaabeeranga mulamu mu go.”#Leev 18:5, Bar 10:5
13Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky'amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.” #Bar 8:3, Ma 21:23, 2 Kol 5:21 14Kale kaakano mu Kristo Yesu omukisa gwa Ibulayimu gutuuka eri Ab'amawanga, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky'Omwoyo olw'okukkiriza.
15Ab'oluganda, njogera mu buntu: endagaano newakubadde nga ya muntu buntu bw'emala okukakasibwa, tewali agiggyawo newakubadde agyongerako. 16Kaakano ebyo ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omwana we. Naye tekyogera nti, “ N'eri abaana be nga bangi,” naye eri omu, “nga ye mwana we,” oyo ye Kristo.#Lub 12:7; 13:15; 17:7; 22:18; 24:7 17Kino kye ntegeeza: amateeka, agajja nga wayiseewo emyaka bina mu asatu (430) tegaggyaawo ndagaano Katonda gye yali amaze okukakasa, okusobola okudibya ekyasuubizibwa.#Kuv 12:40 18Kale oba ng'obusika buva mu mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza.#Bar 11:6 19Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gassibwawo lwa kwonoona, okutuusa nga omwana gwe basuubiza ekisuubizo azze, era gaalagirwa bamalayika okuyita mu mutabaganya.#Bar 5:20, Beb 2:2, Bik 7:38,53 20Naye omutabaganya kitegeeza kusukka kw'omu, naye Katonda ali omu. 21Kale olwo amateeka gakontana n'ebisuubizo bya Katonda? Si bwe kiri; kuba singa amateeka gaaweebwa nga ge gayinza okuleeta obulamu, ddala obutuukirivu bwandibadde mu mateeka.#Bar 8:2-4 22Naye ebyawandiikibwa biteeka ebintu byonna ku kibi, olwo ekyo ekyasuubizibwa olw'okukkiriza Kristo Yesu kiryoke kiweebwe abo abakkiriza. #Bar 3:9-19; 11:32
23Naye okukkiriza nga tekunnaba kujja, twakuumirwanga mu bufuge bwa mateeka, nga tusibibwa olw'okukkiriza okugenda okubikkulwa.#Bag 4:3, 1 Peet 1:5 24Bwe kityo amateeka gaatukuuma okutuusa Kristo bwe yajja, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza. 25Naye kaakano ng'okukkiriza nga kumaze okujja, tetukyali wansi wa mukuumi. #Bar 10:4 26Kubanga mu Kristo Yesu mmwe mwenna muli baana ba Katonda olw'okukkiriza. #Yok 1:12, Bar 8:17 27Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo.#Bar 6:3; 13:14 28Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu.#Bar 10:12, 1 Kol 12:13 29Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali.#Bar 9:7