2 Samwiri 16
16
Dawudi ne Ziba
1Awo Dawudi bwe yali ng'ayise katono ku ntikko y'olusozi, Ziba omuddu wa Mefibosesi n'amusisinkana ng'alina endogoyi bbiri (2) eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati bibiri (200), n'ebirimba eby'ezabbibu enkalu kikumi (100), n'ebibala eby'ekyeya kikumi (100), n'ensawo ey'omwenge ey'eddiba.#1 Sam 25:18, 2 Sam 9:2-13 2Kabaka n'abuuza Ziba nti, “Bino oleese byaki?” Ziba n'amuddamu nti, “Endogoyi za nnyumba ya kabaka okwebagalangako, emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya balenzi bo okulyako, omwenge gwa kunywebwa abo abanaabanga bakoyedde mu ddungu.”#2 Sam 17:29 3Kabaka n'abuuza nti, “Mefibosesi mukama wo ali ludda wa?” Ziba n'amuddamu nti, “Asigadde Yerusaalemi kubanga agambye nti, ‘Leero Abaisiraeri banziriza obwakabaka bwa jjajjange!’ ”#2 Sam 19:26,27 4Awo kabaka n'agamba Ziba nti, “Byonna ebya Mefibosesi kaakano bibyo.” “Ziba n'addamu nti Neeyanziza, n'eyongere okuganja mu maaso go, ayi mukama wange kabaka.”#2 Sam 19:29
Dawudi ne Simeeyi
5Awo kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bakulimu, ne mufuluma omwo omusajja ow'oku nda y'ennyumba ya Sawulo, erinnya lye Simeeyi, mutabani wa Gera; n'afuluma n'ajja, ng'akolima.#2 Sam 19:16,21, 1 Bassek 2:8,36-46 6N'akasuukirira Dawudi amayinja n'abaddu bonna abaali naye, n'abasajja bonna ab'amaanyi baali beetoolodde kabaka. 7Awo Simeeyi n'avuma Dawudi ng'agamba nti, “Vaawo, genda, musajja ggwe omutemu era atagasa.#1 Sam 2:12, 2 Sam 19:21 8Mukama awooledde eggwanga ku ggwe olw'okutta ab'ennyumba ya Sawulo, ggwe wanyagako obwakabaka bwe. Obwakabaka Mukama kyavudde abuwa Abusaalomu mutabani wo. Laba kaakano otuuse okuzikirira, kubanga oli mutemu!”#Balam 9:56,57, 2 Sam 3:1, 1 Bassek 2:32,33 9Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'agamba kabaka nti, “Embwa eno enfu lwaki ekuvuma? Nzikiriza ŋŋende mutemeko omutwe.”#Kuv 22:28, 1 Sam 26:8 10Kabaka n'agamba nti, “Kiki kyenina okukola nammwe batabani ba Zeruyiya? Bwaba nga akolima nga Mukama y'amugambye nti, ‘Kolimira Dawudi;’ Kale ani anaayogera nti, ‘Kiki ekikukozeseza bw'otyo?’#2 Sam 2:18; 15:25,26; 19:22, Yob 9:12, Kung 3:37,38 11Omubenyamini mumuleke avume kubanga Mukama yamulagidde. Olaba ne mutabani wange gwenezaalira naye ayagala okunzita!#2 Sam 12:11 12Oba olyawo Mukama anaatunuulira ekibi ekinkoleddwa, naansasula mu obulungi olw'okuvumibwa bw'entyo.”#Kung 3:28-33 13Awo Dawudi ne basajja ne beeyongera okutambula nga bayita mu kkubo; Simeeyi ye n'ayita ku lusozi nga abolekedde, n'agenda nga amuvuma nga era bwabakasukirira amayinja n'okubafumuliira enfuufu.#2 Sam 19:21 14Awo Kabaka n'abantu bonna abaali naye ne batuuka nga bakooye ne bawumulirako awo.
Abusaalomu e Yerusaalemi
15Awo Abusaalomu ng'ali ne Akisoferi n'abasajja bonna Abaisiraeri ne bayingira Yerusaalemi.#2 Sam 15:37 16Awo olwatuuka Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, najja eri kabaka Abusaalomu, n'amugamba nti, “Wangaala Ayi kabaka! Wangaala ayi kabaka!”#1 Sam 10:24, 2 Sam 15:37, 1 Bassek 1:25,39, 2 Bassek 11:12 17Abusaalomu n'abuuza nti, “Kusaayi nti, Bw'otyo bwoyagala mukwano gwo Dawudi? Kiki ekyakulobera okugenda naye?” 18Kusaayi n'addamu Abusaalomu nti, “Oyo Mukama n'abantu bonna Abaisiraeri gwe balonze, nange n'abeeranga wuwe era n'abanga naye. 19Era n'ekirala, ani gwe nnaaweereza bwe siweereza mutabani wa mukama wange? Nga bwe nnaweerezanga kitaawo, era bwe ntyo naawe bwe nnaakuweerezanga.”#2 Sam 15:34 20Awo Abusaalomu n'abuuza Akisoferi nti, “Tuwe amagezi, tukole tutya?” 21Akisoferi n'addamu Abusaalomu nti, “Genda weegatte n'abazaana bakitaawo b'alese okukuuma olubiri; Isiraeri yenna balikiwulira balimanya nga kitaawo akukyaye, olwo abantu bonna abali naawe ne balyoka beeyongera amaanyi.”#2 Sam 15:16; 20:3 22Awo ne baterawo Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba; Abusaalomu n'agenda neyeegatta n'abazaana ba kitaawe nga Isiraeri yenna alaba.#2 Sam 12:11,12 23Mu biro ebyo amagezi gonna Akisoferi ge yawanga gakkirizibwanga nga agavudde eri Katonda; era Dawudi ne Abusaalomu ne bagagobereranga.#2 Sam 15:12
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.