Skip to content

2 Samwiri 14

14
Yowaabu ateekateeka okudda kwa Abusaalomu
1Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu. 2Yowaabu n'atumya omukazi ow'amagezi okuva e Tekowa n'amugamba nti, “Nkwegayiridde, weefuule ng'afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okufiirwa, era tosaaba mafuta, naye weefuule ng'omukazi eyaakamala ebiro ebingi ng'akungubagira omufu; 3oyingire eri kabaka omugambe ebigambo bye nnaakugamba.” Awo Yowaabu n'amuweerera ebigambo.#2 Sam 14:19; 8:8 4Awo omukazi ow'e Tekowa n'ayingira eri kabaka, n'avuunama ne yeeyanza n'ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.”#2 Bassek 6:26; 8:3 5Kabaka n'amubuuza nti, “ Obadde otya?” N'addamu nti, “Mazima nze ndi mukazi nnamwandu ne baze yafa.#2 Sam 12:1 6Omuzaana yalina abaana babiri, ne balwanira ku ttale nga tewali abataasa, omu n'afumita munne n'amutta. 7Kale kaakano, ekika kyonna kingolokokeddeko nga boogera nti, ‘Waayo oyo eyafumita muganda we tumutte olw'obulamu bwa muganda we gwe yatta,’ bwe tutyo tutte n'omusika. Bwe banaakola bwe batyo banaaba bazikiza eryanda lyange erisigaddewo, ne batamulekera baze linnya newakubadde ekitundu ekifisseewo ku ttaka lyonna. Kale bwe banaamutta n'aba nsigadde sirina mwana era nga bazikirizza erinnya lya baze nga talinawo zzadde lisigaddewo ku nsi.”#Mak 12:7 8Awo kabaka n'agamba omukazi nti, “Ddayo ewuwo, ensonga zo nja kuzikolako.” 9Awo omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti, “Mukama wange, ayi kabaka, obutali butuukirivu bube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; kabaka abe nga taliiko musango n'entebe ye ey'obwakabaka.”#1 Sam 25:24 10Kabaka n'ayogera nti, “Buli anaakugambanga ekigambo kyonna, omuleetanga gye ndi so talikukwatako lwa kubiri.” 11Awo omukazi n'ayogera nti, “Nkwegayiridde ayi kabaka, saba Mukama Katonda wo aziyize oyo, awalana eggwanga ly'omusaayi aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange.” Kabaka n'addamu nti, “Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba luviiri lumu lwa mutabani wo oluligwa wansi.”#Kubal 35:19,21, Ma 19:12, 1 Sam 14:45, Bik 27:34 12Awo omukazi n'ayogera nti, “Nkwegayiridde, omuzaana wo ayogere ekigambo ne mukama wange kabaka.” Kabaka n'addamu nti, “Yogera.” 13Omukazi n'ayogera nti, “Lwaki wateesa ekigambo ekifaanana bwe kityo eri abantu ba Katonda? Kubanga kabaka bw'alagira bwatyo, aliŋŋaanga eyesalira omusango, bwatakomyawo eka owuwe eyagobebwa.#2 Sam 13:37,38 14Ffenna tuli ba kufa, era tuli ng'amazzi agayiise ku ttaka agatayinza kuyoolebwa. Era ne Katonda, omuntu bw'afa, tamukomyawo mu bulamu. Kyokka kabaka asobola okusala amagezi n'akomyawo oyo eyagobebwa, aleme okusigala mu buwaŋŋanguse.”#1 Sam 26:19, Yob 7:9; 14:10, Zab 88:5, Mub 3:19-21; 8:8 15Kale nno, Mukama wange kabaka, kubanga abantu bantiisizzatiisizza, era omuzaana wo nnalowooza nti, “Nja kwogerako ne kabaka, mpozzi kabaka alikola omuzaana we by'amwegayiridde. 16Kubanga kabaka anaawulira, n'awonya omuzaana we mu mukono gw'omusajja ayagala okunzikiriza ffembi ne mutabani wange okutuggya mu busika bwa Katonda. 17Nze omuzaana wo kyenva njogera nti, ‘Nkwegayiridde Mukama wange kabaka ekigambo kyo kimpe emirembe;’ kubanga mukama wange kabaka aliŋŋaanga malayika wa Katonda asobola okwawulamu ebirungi n'ebibi; Mukama Katonda wo abeere naawe!”#2 Sam 19:27 18Awo kabaka n'alyoka addamu n'agamba omukazi nti, “Tonkisa, nkwegayiridde, ekigambo kyonna kye nnaakubuuza.” Omukazi n'ayogera nti, “Mukama wange kabaka mbuuza kaakano.” 19Kabaka n'amubuuza nti, “Mu bino byonna by'oyogedde mulimu omukono gwa Yowaabu?” Omukazi n'addamu n'ayogera nti, “Nga ggwe bw'oli omulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza okukyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okuva ku kigambo kyonna mukama wange kabaka ky'ayogedde; kubanga omuddu wo Yowaabu ye yandagira, era ye yaweerera omuzaana wo ebigambo bino byonna;#2 Sam 14:3 20Olw'okwagala okukyusa ebiriwo, omuddu wo Yowaabu kye yavudde akola bw'atyo. Era ggwe mukama wange, oli mugezi nga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.” 21Awo Kabaka n'agamba Yowaabu nti, “Kaakano nzikirizza. Genda okomyewo omuvubuka oyo Abusaalomu.” 22Awo Yowaabu n'avuunama, ne yeeyanza, ne yeebaza kabaka; n'ayogera nti, “Leero omuddu wo aganze mu maaso go, mukama wange, ayi kabaka, kubanga kabaka akoze omuddu we ky'amusabye.” 23Awo Yowaabu n'asituka n'agenda e Gesuli n'aleeta Abusaalomu e Yerusaalemi.#2 Sam 13:38 24Kabaka n'ayogera nti, “Addeyo mu nnyumba ye ye, naye aleme okujja mu maaso gange.” Awo Abusaalomu n'addayo mu nnyumba ye, n'atalaba maaso ga kabaka.
Abusaalomu atabagana ne kabaka
25Awo mu Isiraeri yenna temwali muntu n'omu alabika bulungi nga Abusaalomu; okuva wansi ku bigere okutuuka ku bwezinge bw'omutwe gwe nga taliiko kabi. 26Buli nkomerero ya mwaka, Abusaalomu yasalanga enviiri ku mutwe gwe, kubanga zaamuzitoowereranga. Bwe yazisalanga, n'azipima, zaawezanga sekeri bibiri (200), ng'okupima kwa kabaka bwe kwali. 27Awo Abusaalomu n'azaalirwa abaana ab'obulenzi basatu n'ow'obuwala omu, erinnya lye Tamali; yali mukazi wa maaso malungi.#2 Sam 18:18
28Awo Abusaalomu n'amala emyaka ebiri (2) emirambirira mu Yerusaalemi; nga talabye ku maaso ga kabaka. 29Awo Abusaalomu n'atumya Yowaabu, okumutuma eri kabaka; naye n'atakkiriza kujja gy'ali; awo n'atumya nate omulundi ogwokubiri, era n'atakkiriza kujja. 30Kyeyava agamba abaddu be nti, “Laba ennimiro ya Yowaabu eya Sayiri eriraanye n'eyange; mugende mugyokye.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagyokya. 31Awo Yowaabu n'alyoka asituka n'agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n'amubuuza nti, “Abaddu bo bookedde ki ennimiro yange?” 32Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti, “Laba nnakutumira nga njogera nti, ‘Jjangu nkutume eri kabaka, omubuuze nti Naviira ki e Gesuli? Kyandibadde kirungi ne mbererayo ddala okutuusa kaakati; kale ka ŋŋende ndabe amaaso ga kabaka, oba nga nnina omusango gwonna anzite.’ ”#2 Sam 13:38 33Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'amubuulira; kabaka n'ayita Abusaalomu, bwe yagenda gyali n'avuunama mu maaso ge; kabaka n'anywegera Abusaalomu.#Luk 15:20