Skip to content

2 Samwiri 12

12
Obubaka bwa Nasani n'okwenenya kwa Dawudi
1Awo Mukama n'atuma Nasani eri Dawudi. N'agenda gy'ali n'amugamba nti, “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu; omu nga mugagga n'omulala nga mwavu.#2 Sam 7:2; 14:5-7, 1 Bassek 1:10; 20:35-41 2Omugagga yalina endiga n'ente nnyingi nnyo nnyini; 3naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k'endiga akaluusi ke yagula n'akalabirira; ne kakulira wamu n'abaana be; kaalyanga ku mmere ye, ne kanywanga ku kikopo kye, ne kagalamira mu kifuba kye ne kaba gy'ali nga muwala we. 4Awo ne wajja omutambuze eri omugagga oyo, n'alema okutoola ku ndiga ze ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gy'ali, naye n'atwala omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omusajja azze gy'ali.” 5Awo Dawudi n'asunguwalira nnyo omusajja; n'agamba Nasani nti, “Mukama nga bw'ali omulamu, omusajja oyo eyakola ekyo asaanidde kufa; 6era alizzaawo omwana gw'endiga emirundi ena (4), kubanga bweyakola ekyo teyalina kusaasira.”#Kuv 22:1, Luk 19:8
7Awo Nasani n'agamba Dawudi nti, “Ye ggwe. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri ne nkuggya mu mukono gwa Sawulo;#1 Sam 16:13 8ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba mukama wo ne mbakuwa mu kifuba kyo, ne nkuwa ennyumba ya Isiraeri n'eya Yuda; n'ebyo singa byali bitono, n'andikwongeddeko ne birala bingi. 9Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama okukola ebiri mu maaso ge ebibi? Osse Uliya Omukiiti n'ekitala, n'otwala mukazi we okuba mukazi wo, omusse n'ekitala eky'abaana ba Amoni.#Kubal 15:31, 1 Sam 15:19, 2 Sam 11:15,17,27 10Kale nno ekitala tekiivenga mu nnyumba yo ennaku zonna; kubanga nze onnyoomye nze n'otwala mukazi wa Uliya Omukiiti okuba mukazi wo.’#2 Sam 13:28,29; 18:14,15, 1 Bassek 2:25 11Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe, era nditwala bakazi bo nga olaba ne mbawa muliraanwa wo, era alyebaka nabo emisana ttuku.#2 Sam 16:11 12Kubanga ggwe wakikola mu kyama; naye nze ndikikola nga Abaisiraeri bonna balaba, emisana ttuku.’ ” 13Awo Dawudi n'agamba Nasani nti, “Nnyonoonye Mukama.” Nasani n'agamba Dawudi nti, “Mukama naye aggyeewo ekyonoono kyo; toofe.#1 Sam 15:24, Zab 51:4, Mi 7:18 14Naye kubanga owadde abalabe ba Mukama ebbanga ddene okuvvoola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa ajja kufa.”#Ez 36:20,23, Bar 2:24 15Awo Nasani ne yeddirayo mu nnyumba ye.
Omwana wa Dawudi afa
Awo Mukama n'alwaza omwana muka Uliya gwe yazaalira Dawudi; Omwana n'alwala nnyo. 16Dawudi kyeyava yeegayirira Katonda olwo mwana; Dawudi n'asiiba n'ayingira mu nnyumba, n'agalamira ku ttaka okukeesa obudde.#2 Sam 13:31, 1 Bassek 21:27 17Awo abakadde ab'omu nnyumba ye ne bajja, ne bayimirira w'ali, okumuyimusa okuva wansi, naye n'atakkiriza era n'agaana n'okulya nabo emmere. 18Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaddu ba Dawudi ne batya okumubuulira omwana ng'afudde; kubanga baayogera nti, “Laba, omwana bwe yali ng'akyali mulamu ne twogera naye, n'atawulira ddoboozi lyaffe; kale anaabeera atya bwe tunaamubuulira nti omwana afudde?” 19Naye Dawudi bwe yalaba abaddu be nga boogerera wamu ekyama, Dawudi n'ategeera omwana ng'afudde; Dawudi n'abuuza nti, “Omwana afudde?” Ne bamuddamu nti, “ Afudde.” 20Awo Dawudi n'ava wansi n'anaaba n'asaaba amafuta, n'akyusa ebyambalo bye; n'agenda mu nnyumba ya Mukama n'asinza; n'alyoka addayo mu nnyumba ye; awo bwe yayagala okulya ne bateeka emmere mu maaso ge n'alya.#2 Sam 7:18, Yob 1:20 21Awo abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana bwe yali ng'akyali mulamu; naye omwana ng'afudde, n'ogolokoka n'olya ku mmere!” 22Dawudi n'addamu nti, “Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nnasiiba ne nkaaba; kubanga nnalowooza nti, ‘Ani amanyi oba olyawo Mukama anankwatirwa ekisa omwana n'awona.’#Yon 3:9 23Naye kaakano ng'amaze okufa nnandisiibidde ki? Nnyinza okumukomyawo? Nze ndigenda gy'ali naye ye takyadda gye ndi.”#Lub 37:35, 1 Sam 28:19, Yob 7:8-10
Sulemaani azaalibwa
24Dawudi n'akubagiza Basuseba mukazi we n'ayingira gy'ali n'asula naye; n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma erinnya lye Sulemaani. Mukama n'amwagala;#1 Byom 22:9, Mat 1:6 25Mukama n'atuma Nnabbi Nasani, n'atuuma omwana erinnya lye Yedidiya, kubanga Mukama yamwagala.
Dawudi awamba Labba
26Awo Yowaabu n'alwana n'abaana ba Amoni, n'awamba Labba ekibuga kya kabaka.#1 Byom 20:1-3, 2 Sam 11:1 27Awo Yowaabu n'atumira Dawudi ababaka n'agamba nti, “Nnwanye ne Labba, ekibuga eky'amazzi nkiwambye. 28Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okimenye; nneme okumenya ekibuga ne bakituuma erinnya lyange.” 29Dawudi n'akuŋŋaanya abantu bonna n'agenda e Labba, n'alwana nakyo n'akimenya. 30N'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe; n'obuzito bwayo bwali talanta eya zaabu, ne mu yo nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; n'eteekebwa ku mutwe gwa Dawudi. Mu kibuga n'aggyamu omunyago mungi nnyo. 31Abantu baamu n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa emisumeeno, n'ensuuluulu, n'embazzi, era n'abakozesa mu kwokya amatoffaali. Era bw'atyo bwe yakola abantu bonna mu bibuga by'Abamoni. Awo Dawudi n'abantu be bonna ne baddayo e Yerusaalemi.