1
ENTANDIKWA 42:21
Luganda Bible 2003
LB03
Ne bagambagana nti: “Mazima omusango gwatusinga olwa muganda waffe, kubanga twalaba bw'abonaabona bwe yatwegayirira, naye ffe ne tugaana okuwulira, kye tuvudde tubonaabona bwe tuti!”
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
ENTANDIKWA 42:6
Yosefu ye yali omufuzi w'ensi ey'e Misiri, era ye yaguzanga abantu bonna abaavanga wonna mu nsi. Baganda be ne bajja, ne bavuunama mu maaso ge, ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka.
3
ENTANDIKWA 42:7
Yosefu bwe yalaba baganda be, n'abategeera, naye n'abayisa nga b'atamanyi, n'ayogera nabo n'ebboggo, n'abagamba nti: “Muva wa?” Ne baddamu nti: “Tuva mu nsi ya Kanaani, tuzze kugula mmere.”