1
ENTANDIKWA 41:16
Luganda Bible 2003
LB03
Yosefu n'addamu kabaka nti: “Si nze, naye Katonda ye anaakuwa, ayi Kabaka, okuvvuunula okulungi.”
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
ENTANDIKWA 41:38
Kabaka n'agamba abaweereza be nti: “Tuyinza okuzuulayo omusajja ali ng'ono, omusajja ajjudde omwoyo gwa Katonda?”
3
ENTANDIKWA 41:39-40
Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Nga Katonda bw'akulaze ebyo byonna, tewali n'omu mujagujagu, era wa magezi nga ggwe. Ggwe onoofuganga ensi yange, era abantu bange bonna banaawuliranga by'olagira. Nze nzekka, nze nnaakusinganga okuba n'obuyinza.”
4
ENTANDIKWA 41:52
N'atuuma n'owookubiri erinnya Efurayimu, kubanga yagamba nti: “Katonda ampadde abaana mu nsi mwe mbonaabonedde.”
5
ENTANDIKWA 41:51
Yosefu n'atuuma omwana omubereberye erinnya Manasse, kubanga yagamba nti: “Katonda anneerabizza okubonaabona kwange kwonna n'amaka ga kitange gonna.”