Logotipo da YouVersion
Ícone de Pesquisa

Zabbuli 76

76
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ebintu eby'engoye. Zabbuli ya Asafu, oluyimba.
Katonda omukulu, ow'amanyi
1Mu Yuda Katonda amanyiddwa,
Erinnya lye kkulu mu Isiraeri.
2mu Salemi eweema ye mweri,
N'ekifo kye ky'atuulamu mu Sayuuni.#Lub 14:18, Zab 9:11; 27:5
3Eyo gye yamenyera obusaale obw'omutego,
Engabo, n'ekitala, n'olutalo.#Zab 46:9, Ez 39:9 (Seera)
4Oli wa muwendo, wa kitiibwa nnyo,
osinga ensozi ezolubeereera.
5Ab'emitima emizira banyagiddwa,
beebase mu tulo twabwe;
bantu bonna abalwanyi,
tebasobola kukozesa emikono gyabwe.#Zab 13:3, Yer 51:39, Nak 3:18
6Bwe wabogolamu, ggwe Katonda wa Yakobo,
abeebagala embalaasi n'embalaasi ne birambaala.#Kuv 15:1
7Naye ggwe, otiibwa!
Era ani ayinza okuyimirira mu maaso
go ng'omaze okusunguwala?#Yob 41:10, Zab 130:3, Nak 1:6
8Wasinzira mu ggulu n'osala omusango;
Ensi n'etya, n'esirika,#2 Byom 20:29,30, Kaab 2:20
9Katonda bwe yagolokoka okusala omusango,
Okulokola abanyigirizibwa bonna abali mu nsi.#Zab 9:7,8 (Seera)
10Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza;
Obusungu obulisigalawo olibwesiba.#Kuv 9:16
11Mweyame obweyamo,
musasule Mukama Katonda wammwe;
Bonna abamwetoolodde bamuleetere ebirabo
oyo agwanira okutiibwa.#Zab 50:14; 68:29; 89:7, Mub 5:4, Is 8:13
12Alizikiriza omwoyo gw'abalangira,
Ye w'entiisa eri bakabaka b'ensi.#Zab 47:2

Atualmente Selecionado:

Zabbuli 76: LBR

Destaque

Copiar

Comparar

Compartilhar

None

Quer salvar seus destaques em todos os seus dispositivos? Cadastre-se ou faça o login