Logotipo da YouVersion
Ícone de Pesquisa

Zabbuli 132

132
Oluyimba olw'oku madaala.
Okusabira Yerusaalemi
1Jjukira Ayi Mukama, Dawudi,
Okubonaabona kwe kwonna kweyagumiikiriza.
2Bwe yalayirira Mukama,
Ne yeeyama Omuzira wa Yakobo;#Lub 49:24, Is 60:16
3Ssiriyingira mu nnyumba yange,
wadde okugenda mu kitanda kyange;
4Ssirikkiriza tulo kunkwata,
Newakubadde okuzibiriza amaaso gange,#Nge 6:4
5Okutuusa lwe ndimulabira Mukama ekifo,
Eweema ey'Omuzira wa Yakobo.#1 Byom 22:7, Bik 7:46, Lub 13:8, 1 Kol 1:10
6Laba, twagiwulirako mu Efulasa;
Twagiraba mu nnimiro ey'ekibira.#1 Sam 7:1, 1 Byom 13:5
7Tuliyingira mu weema ze;
Tulisinziza awali entebe y'ebigere bye.#Zab 99:5
8 # 2 Byom 6:41,42 Golokoka, Ayi Mukama, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu;
Ggwe, n'essanduuko ey'amaanyi go.#Zab 78:61
9Bakabona bo bambale obutuukirivu;
N'abatukuvu bo boogerere waggulu olw'essanyu.#Yob 29:14, Is 61:10
10Ku lw'omuddu wo Dawudi
Togoba maaso g'oyo gwe wafukako amafuta.
11Mukama yalayirira Dawudi mu mazima;
Talikyuka kugaleka,
Ku bibala eby'omubiri gwo nditeeka ku ntebe yo.
12Abaana bo bwe banakkirizanga
okwekuuma endagaano yange
N'obujulirwa bwange bwe nnaabayigirizanga,
Era n'abaana baabwe banaatuulanga ku ntebe yo emirembe gyonna.#1 Bassek 2:4; 8:25, 2 Byom 6:16, Zab 89:3,4; 110:4, Luk 1:32, Bik 2:30
13Kubanga Mukama yeeroboza Sayuuni;
Yasiima okukituulamu.
14Kino kye kifo kye mpummuliramu ennaku zonna,
Wano we nnaatuulanga;
kubanga nsiimyewo.#Zab 68:16; 78:68, Mat 23:21
15Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n'ebirungi byakyo;
Nnakkusanga abaavu baakyo emmere.
16Era ne bakabona baakyo ndibambaza obulokozi;
N'abatukuvu baakyo balyogerera waggulu olw'essanyu.#Zab 132:9
17Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza,
Nnamuteekerawo ettabaaza eyo gwe nnafukako amafuta.#1 Bassek 11:36; 15:4, Ez 29:21, Luk 1:69
18Abalabe be ndibambaza ensonyi;
Naye ku mutwe gwe engule ey'ekitiibwa ekingi.#Yob 8:22

Atualmente Selecionado:

Zabbuli 132: LBR

Destaque

Copiar

Comparar

Compartilhar

None

Quer salvar seus destaques em todos os seus dispositivos? Cadastre-se ou faça o login