Yeremiya 35
35
Yeremiya n'Abalekabu
1Ekigambo ekyajja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyogera nti,#Yer 25:1 2“Genda eri ekika eky'Abalekabu oyogere nabo, obayingize mu kisenge ekimu, obawe omwenge banywe.”#1 Byom 2:55 3Kale ne ntwala Yazaniya mutabani wa Yeremiya, Yeremiya mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna n'ekika kyonna eky'Abalekabu; 4ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani, Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda, ekyali kiriraanye ekisenge eky'abakungu, ekyali waggulu w'ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omuggazi.#Yer 21:1 5ne nteeka ebita ebijjudde omwenge n'ebikompe mu maaso g'abaana b'ekika eky'Abalekabu, ne mbagamba nti, “Munywe omwenge.” 6Naye bo ne boogera nti, “Tetuunywe ku mwenge, kubanga Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe yatulagira ng'ayogera nti, ‘Temunywanga ku mwenge, mmwe, newakubadde batabani bammwe, emirembe gyonna;#2 Bassek 10:15,23 7so temuzimbanga nnyumba, temusiganga nsigo, temusimbanga lusuku lwa mizabbibu, era temubanga nazo, naye munaamalanga ennaku zammwe zonna mu weema; mulyoke muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mutuulamu.’#Kuv 20:12 8Era twagondera eddoboozi lya Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe mu byonna bye yatukuutira, obutanywanga ku mwenge ennaku zaffe zonna, ffe ne bakazi baffe ne batabani baffe ne bawala baffe; 9newakubadde okwezimbira ennyumba ez'okubeeramu. Tetulina lusuku lwa mizabbibu, newakubadde ennimiro, wadde ensigo; 10naye tubeera mu weema, era twagondera n'okukola nga byonna bwe byali Yonadaabu jjajjaffe bye yatulagira. 11Naye olwatuuka Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bwe yatabaala ensi, ne twogera nti, ‘Mujje tugende e Yerusaalemi olw'okutya eggye ery'Abakaludaaya n'eggye ery'Abasuuli;’ kyetuva tubeera e Yerusaalemi.”#2 Bassek 24:1,2
12Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijja eri Yeremiya nga kyogera nti, 13“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Genda obagambe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti, Temukkirize kuyigirizibwa n'okuwuliriza ebigambo byange? Bw'ayogera Mukama.#Yer 5:3 14Ekiragiro kya Yonadaabu mutabani wa Lekabu kye yalagira batabani be, obutanywanga ku mwenge, kyagonderwa, so tebanywako na guno gujwa, kubanga bagondera ekiragiro kya jjajjaabwe, naye nze n'ayogera nammwe, obutayosa; so temumpulirizanga. 15Mbatumidde abaddu bange bonna bannabbi, nga mbatuma obutayosa, nga njogera nti, Mudde nno buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi, mulongoose ebikolwa byammwe, so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga, kale mulituula mu nsi gye nnawa mmwe ne bajjajjammwe; naye temwatega kutu kwammwe oba okumpuliriza.#2 Bassek 17:13, Yer 18:11; 34:14 16Kale batabani ba Yonadaabu mutabani wa Lekabu batuukirizza ekiragiro kya jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebaŋŋondedde. 17Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndireeta ku Yuda ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi obubi bwonna bwe nnaakaboogerako; kubanga n'ayogera nabo, naye ne batawulira; era mbayise, naye ne batayitaba.” 18Awo Yeremiya n'agamba ekika eky'Abalekabu nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga mugondedde ekiragiro kya Yonadaabu jjajjammwe ne mukwata byonna bye yabakuutira ne mukola nga byonna bwe byali bye yabalagira; 19n'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Yonadaabu mutabani wa Lekabu taabulwenga musajja wa kuyimirira mu maaso gange ennaku zonna.”
Atualmente Selecionado:
Yeremiya 35: LBR
Destaque
Copiar
Comparar
Compartilhar
Quer salvar seus destaques em todos os seus dispositivos? Cadastre-se ou faça o login
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.