Logotipo da YouVersion
Ícone de Pesquisa

Isaaya 39

39
Ekibi Keezeekiya
1 # 2 Bassek 20:12-19 Awo mu kiseera ekyo, Merodakubaladani mutabani wa Baladani, kabaka w'e Babbulooni, n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira nga yali alwadde era ng'awonye.#2 Byom 32:21 2Keezeekiya n'abasanyukira, n'abalaga ennyumba ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza ne zaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi, n'ennyumba yonna ey'eby'okulwanyisa bye. Tewaali kya bugagga ekyali mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.#2 Bassek 18:15,16 3Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti, “Abasajja bano boogedde ki? Era baava wa okujja gy'oli?” Keezeekiya n'amuddamu nti, “Bava mu nsi ey'ewala e Babbulooni.” 4Awo n'amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?” Keezeekiya n'addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze.” 5Awo Isaaya n'agamba Keezeekiya nti, “Wulira ekigambo kya Mukama ow'eggye. 6Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bakitaawo bye baaterekanga okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babbulooni, tewaliba kintu ekirisigalawo, bw'ayogera Mukama.#2 Bassek 24:13, 2 Byom 36:18 7N'abamu ku batabani bo, b'ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w'e Babbulooni ne balaayibwa.”#Dan 1:3 8Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi,” kubanga yalowooza nti, “kasita emirembe n'obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”#1 Sam 3:18, 2 Byom 32:26

Atualmente Selecionado:

Isaaya 39: LBR

Destaque

Copiar

Comparar

Compartilhar

None

Quer salvar seus destaques em todos os seus dispositivos? Cadastre-se ou faça o login