Logotipo da YouVersion
Ícone de Pesquisa

Isaaya 12

12
1Ku lunaku olwo abantu balyogera bwe bati, “Nnaakwebaza, ayi Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo buweddewo, kaakati onzizizzaamu amaanyi.” 2Laba, Katonda bwe bulokozi bwange, nnaamwesiganga ne ssitya. Mukama Yakuwa ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era ye afuuse obulokozi bwange.#Kuv 15:2, Zab 118:14 3Munasenanga n'essanyu amazzi okuva mu nzizi ez'obulokozi.#Yok 4:14 4Era ku lunaku olwo mulyogera nti, “Mwebaze Mukama, mutendereze erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.”#Zab 105:1; 145:4,6; 148:13 5Mu muyimbire Mukama, kubanga akoze eby'ekitalo. Mubimanyise mu nsi yonna. 6Yogerera waggulu era oyimbire waggulu n'essanyu, ggwe atuula mu Sayuuni: kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu.#Is 1:4, Kubal 11:9

Atualmente Selecionado:

Isaaya 12: LBR

Destaque

Copiar

Comparar

Compartilhar

None

Quer salvar seus destaques em todos os seus dispositivos? Cadastre-se ou faça o login