Logotipo da YouVersion
Ícone de Pesquisa

Omubuulizi 11

11
Omugezi by'akola
1Suulanga emmere yo ku mazzi; kubanga oligiraba ennaku nnyingi nga ziyiseewo.#Ma 15:10, Nge 19:17, Mat 10:42, 2 Kol 9:6 2Owenga musanvu omugabo, weewaawo, munaana; kubanga tomanyi ekibi bwe kiriba ku nsi.#Zab 112:9, Luk 6:30, Bef 5:16 3Ebire bwe bijjula enkuba, olwo neyiika ku nsi; n'omuti bwe gugwa okwolekera obukiikaddyo oba obukiikakkono, mu kifo omuti we gugwa we gulibeera. 4Alabirira embuyaga talisiga; n'oyo atunuulira ebire talikungula. 5Nga bw'otomanyi ekkubo ery'empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw'oyo ali olubuto; era bw'otyo bw'otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna.#Zab 139:15, Yok 3:8 6Enkya osiganga ensigo zo, n'akawungeezi toddirizanga mukono gwo; kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi. 7Mazima omusana guwooma, era kigambo kya ssanyu amaaso okulaba enjuba. 8Weewaawo, omuntu bw'awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna; naye ajjukirenga ennaku ez'ekizikiza, kubanga ziriba nnyingi. Byonna ebijja butaliimu.#Mub 2:23
Okubuulirira abavubuka
9Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez'obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag'omutima gwo ne mu kulaba kw'amaaso go; naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonna.#Kubal 15:39, Mub 2:10; 9:7; 12:14 10Kale ggyangawo obuyinike ku mutima gwo, oggyengawo obubi ku mubiri gwo; kubanga obuto n'obuvubuka butaliimu.#2 Kol 7:1

Atualmente Selecionado:

Omubuulizi 11: LBR

Destaque

Copiar

Comparar

Compartilhar

None

Quer salvar seus destaques em todos os seus dispositivos? Cadastre-se ou faça o login