1
Engero 3:5-6
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe. Mwatulenga mu makubo go gonna, Naye anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.
Comparar
Explorar Engero 3:5-6
2
Engero 3:7
Teweefuulanga mugezi mu maaso go ggwe, Tyanga Mukama, era ovenga mu bubi.
Explorar Engero 3:7
3
Engero 3:9-10
Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna. Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu.
Explorar Engero 3:9-10
4
Engero 3:3
Tosulanga bwesigwa n'amazima. Bisibenga mu bulago bwo, Biwandiikenga munda mu mutima gwo.
Explorar Engero 3:3
5
Engero 3:11-12
Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama, So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya. Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we gw'ayagala.
Explorar Engero 3:11-12
6
Engero 3:1-2
Mwana wange, teweerabiranga bye nkuyigiriza, Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange. Kubanga oliwangaala emyaka mingi, N'obeeranga mu bulamu obw'emirembe.
Explorar Engero 3:1-2
7
Engero 3:13-15
Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N'oyo afuna okutegeera. Kubanga ga muwendo okusinga ffeeza N'amagoba gaago gasinga zaabu ennungi. Ga muwendo mungi okusinga amayinja ag'omuwendo. Era tewali kintu ky'oyinza okwegomba okugeraageranya nago.
Explorar Engero 3:13-15
8
Engero 3:27
Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kibanga mu buyinza bwo okukikola.
Explorar Engero 3:27
9
Engero 3:19
Mukama mu magezi mwe yatondera ensi, mu kutegeera mwe yassizzaawo eggulu.
Explorar Engero 3:19