ABAROOMA 5

5
Okuba obulungi ne Katonda
1Kale nga bwe tubaliddwa okuba abatuukirivu olw'okukkiriza, tulina emirembe mu maaso ga Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo. 2Mu ye mwe twayita okutuuka ku kisa kya Katonda kye tulimu, era tusanyuka olw'okusuubira okugabana ku kitiibwa kya Katonda. 3Si ekyo kyokka, naye twongerako n'okusanyuka mu kubonaabona kwaffe nga tumanyi nti okubonaabona kuvaamu okugumiikiriza, 4okugumiikiriza ne kuvaamu okusiimibwa Katonda, n'okusiimibwa Katonda ne kuvaamu okusuubira. 5Ate okusuubira okwo tekutuswaza, kubanga okwagala kwa Katonda kwabunduggulwa mu mitima gyaffe ku bwa Mwoyo Mutuukirivu gwe twaweebwa.
6Bwe twali nga tetweyinza, Kristo yafiirira aboonoonyi, mu kiseera Katonda kye yateesa. 7Kiba kizibu omuntu okufiirira oyo akola ebituufu. Kale akolera abalala eby'ekisa mpozzi wandibaawo eyeewaayo okumufiirira. 8Naye Katonda alagira ddala nga bw'atwagala, kubanga Kristo yatufiirira bwe twali nga tukyali boonoonyi. 9Kaakano nga bwe tubalibwa okuba abatuukirivu olw'okufa kwe, tugenda kusingawo nnyo okulokolebwa ku bubwe, tuwone obusungu bwa Katonda. 10Kuba oba nga bwe twali nga tukyali balabe ba Katonda, twatabaganyizibwa naye olw'okufa kw'Omwana we, kaakano nga bwe tutabaganye naye, obulamu bw'Omwana we bujja kusingawo okutulokola. 11Era si ekyo kyokka, wabula twongerako n'okusanyukira mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atutuusizza kaakano ku kutabagana okwo.
Adamu ne Kristo
12Ng'ekibi bwe kyajja mu nsi olw'omuntu omu ne kireeta okufa, n'okufa bwe kutyo bwe kwabuna mu bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.#Laba ne Nta 3:6 13Ddala ekibi kyaliwo mu nsi ng'Amateeka tegannateekebwawo. Era awatali tteeka, tewali avunaanibwa kibi. 14Naye okufa kwafuga abantu okuviira ddala ku Adamu, okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n'abo abataayonoona mu ngeri ya Adamu, eyajeemera ekiragiro kya Katonda.
Adamu yali afaananako n'oyo eyali alindirirwa okujja. 15Kyokka bombi si be bamu, kubanga ekirabo kya Katonda kisukkiridde nnyo okwonoona kw'omuntu. Kuba oba ng'okwonoona kw'omuntu omu kwaleetera abangi okufa, ekisa kya Katonda n'ekirabo kye, kye yaweera mu muntu omu Yesu Kristo, kyasinzaawo nnyo okubuna abangi. 16Era ekirabo kya Katonda tekiri ng'okufa okwava mu kwonoona kw'omuntu omu oli. Ekibi kye ekimu, kyaleetera abantu okusingibwa omusango. Naye ebibi bingi bwe byakolebwa abantu, ne wabaawo ekirabo kye batasaanidde, eky'okubaggyisaako omusango. 17Oba ng'omuntu omu bwe yayonoona, okufa kwafuga olw'omuntu oyo omu, abo Katonda be yakwatirwa ekisa ekisukkirivu n'ekirabo eky'obutuukirivu, balisingawo nnyo okufugira mu bulamu, olw'omuntu omu Yesu Kristo.
18Era ng'okwonoona kw'omuntu omu bwe kwaleetera abantu bonna okusingibwa omusango, bwe kityo n'ekikolwa eky'obutuukirivu ekyakolebwa omuntu omu, kyaleetera abantu bonna okuggyibwako omusango n'okuweebwa obulamu. 19N'olwekyo, ng'obujeemu bw'omuntu omu bwe bwaleetera abangi okuba aboonoonyi, bwe butyo n'obuwulize bw'omuntu omu, bulireetera bangi okuba abatuukirivu.
20Amateeka gajja, okwonoona kulyoke kweyongere. Naye okwonoona gye kwakoma okweyongera, n'ekisa kya Katonda gye kyakoma okweyongera ennyo okusingawo. 21Era ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa, n'ekisa kya Katonda bwe kityo bwe kifugira mu butuukirivu, ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe.

선택된 구절:

ABAROOMA 5: LBwD03

하이라이트

복사

비교

공유

None

모든 기기에 하이라이트를 저장하고 싶으신가요? 회원가입 혹은 로그인하세요