ABAROOMA 16
16
Okulamusa
1Mbanjulira mwannyinaffe Foyibe, omuweereza w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekiri mu Kenkereya. 2Mumwanirize ng'abantu ba Katonda bwe baaniriza, kubanga muntu wa Mukama waffe. Era mumuwe kyonna kye yeetaaga ng'ali nammwe, kubanga naye yennyini yayamba bangi, nga nange sibuzeemu.
3Munnamusize Priska ne Akwila, be nkola nabo mu kuweereza Kristo Yesu,#Laba ne Bik 18:2 4abeewaayo okusalwako obulago okuwonya obulamu bwange. Abo si nze mbeebaza nzekka, wabula n'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo eby'abamawanga amalala bibeebaza. 5Munnamusize n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu nnyumba yaabwe.
Munnamusize mukwano gwange Epayineeto, eyali omubereberye mu Asiya okukkiriza Kristo. 6Munnamusize Mariya eyabateganira mmwe ennyo bw'atyo. 7Munnamusize Anduroniiko ne Yuniya baganda bange, be nali nabo mu kkomera, abamanyiddwa obulungi mu batume, era abansooka okubeera abagoberezi ba Kristo.
8Mulamuse Ampuliyaato, mukwano gwange mu Mukama waffe. 9Mulamuse Wurubaano akolera awamu naffe mu kuweereza Kristo, mulamuse ne Sutaaku mukwano gwange. 10Mulamuse Apele Omukristo omutuufu. Mulamuse ab'omu maka ga Arisitobulo. 11Munnamusize ne Herodiyooni, muganda wange. Mulamuse n'ab'omu nnyumba ya Narukiso, abagoberezi ba Mukama waffe.
12Munnamusize Turufayina ne Turufoosa abakola omulimu gwa Mukama waffe. Munnamusize ne Perusi omwagalwa, akoledde ennyo Mukama waffe. 13Mulamuse Ruufo omulondemu wa Mukama waffe. Mulamuse ne nnyina eyafuuka mmange.#Laba ne Mak 15:21 14Mulamuse Asunkurito, Fulegooni, Herume, Paturoba, Heruma, n'abooluganda abali awamu nabo. 15Mulamuse Filologo ne Yuliya, Nerewo ne mwannyina, ne Olimpa, n'abantu ba Katonda bonna abali nabo.
16Mulamusagane mu ngeri eraga okwagalana okw'abooluganda. Ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo bibalamusizza.
Ebisembayo
17Abooluganda, mbeegayiridde mwerindenga abo abaleeta ebyawukanya n'ebyesittaza abantu, ebirwanyisa okuyigirizibwa kwe mwafuna. Mubeewalenga. 18Ab'engeri eyo si baweereza ba Kristo Mukama waffe, wabula baweereza ba mbuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi era eby'okuwaanawaana, ne balimbalimba emitima gy'abantu abatalina kabi.
19Wonna wonna abantu baawulira nga mmwe bwe muli abawulize eri Katonda, kyenva mbeera omusanyufu ku lwammwe. Njagala mubenga bagezi mu kukola ebirungi, naye nga temumanyi kukola bibi. 20Olwo amangu ddala Katonda atuwa emirembe, ajja kubetentera Sitaani wansi w'ebigere byammwe. Emikisa gya Mukama waffe Yesu gibeerenga nammwe.
21Timoteewo akolera awamu nange abalamusizza.#Laba ne Bik 16:1 22Era nange Terutiyo, awandiise ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe.
23Gaayo ansuza, era nga mu nnyumba ye mwe mukuŋŋaanira ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, abalamusizza. Erasto omuwanika w'ekibuga era ne muganda waffe Kwanto babalamusizza.#16:23 Ebiwandiiko ebimu eby'edda byongerako olunyiriri 24: “Mukama waffe Yesu Kristo akwatirwenga ekisa mmwe mwenna.”#Laba ne Bik 19:29; 1 Kor 1:14; 2 Tim 4:20
Okutendereza Katonda
25Tutenderezenga Katonda ayinza okubanyweza mu kukkiriza. Ago ge Mawulire Amalungi ge ntegeeza abantu, ge ga Yesu Kristo, era kye kyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna. 26Naye kaakano ekyama ekyo kyamanyisibwa mu byawandiikibwa abalanzi. Era Katonda ataggwaawo yalagira kimanyibwe ab'amawanga gonna, abantu balyoke bakkirize Katonda era bamuwulirenga.
27Kale Katonda oyo omu era omugezi yekka, aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe n'emirembe. Amiina.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.