ABAROOMA 12
12
Okuweereza Katonda
1Kale abooluganda, mbeegayirira olw'okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe eri Katonda, gibe ekitambiro naye nga kiramu, ekitukuvu era ekimusanyusa. Okwo kwe kumusinzanga okw'amazima. 2Empisa zammwe mulemenga kuzifaananya n'ez'abantu ab'ensi, wabula mukyuke, mufune endowooza empya, mulyoke musobole okumanya ebyo Katonda by'ayagala: ebirungi, ebisanyusa, era ebituufu.
3Olw'ekisa Katonda kye yankwatirwa, ŋŋamba buli omu mu mmwe nti tasaanidde kwerowoozaako kiyitiridde, wabula yeerowoozengako mu ngeri esaanira, era yeekeberenga okusinziira ku kipimo ky'okukkiriza, Katonda kwe yamuwa. 4Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, nga byonna tebikola mulimu gumu,#Laba ne 1 Kor 12:12 5naffe bwe tutyo bwe tuli. Newaakubadde tuli bangi, naye tuli omubiri gumu mu Kristo, era tugattibwa wamu ng'ebitundu eby'omubiri ogumu.
6Kale tukozesenga ebirabo bye tulina ebyenjawulo, okusinziira ku kisa Katonda kye yatukwatirwa. Bwe kiba ekirabo eky'okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, tukibategeezenga ng'okukkiriza kwaffe bwe kuli.#Laba ne 1 Kor 12:4-11 7Oba twafuna kuweereza, tunyiikirenga okuweereza. Oyo ayigiriza, anyiikirenga okuyigiriza. 8Abuulirira abalala, anyiikirenga okubabuulirira. Agaba, agabenga n'omutima gumu. Ali mu buyinza, abeerenga munyiikivu. N'oyo akolera abalala eby'ekisa, abikolenga nga musanyufu.
9Okwagalana kwammwe kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi. 10Mwagalanenga ng'abooluganda. Buli omu anyiikirirenga okuwa munne ekitiibwa. 11Mubeerenga banyiikivu, temugayaalanga. Mweweereyo ddala mu kuweereza Mukama. 12Okusuubira kwammwe kubakuumenga nga muli basanyufu. Mugumiikirizenga mu kubonaabona kwammwe, muyimusenga emitima gyammwe eri Katonda bulijjo. 13Mutoolenga ku byammwe muwe abantu ba Katonda bye beetaaga. Mwanirizenga abagenyi.
14Musabenga Katonda awe emikisa abo ababayigganya. Mubasabirenga mikisa, naye mulemenga kubakolimira.#Laba ne Mat 5:44; Luk 6:28 15Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; munakuwalirenga wamu n'abo abanakuwala. 16Mussenga kimu mwenna. Temwekulumbazanga.#Laba ne Nge 3:7
17Omuntu bw'akolanga ekibalumya, mmwe temwesasuzanga. Mukolenga ekyo abantu bonna kye balaba nga kye kirungi. 18Mukolenga kyonna kye musobola okutabagananga n'abantu bonna. 19Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye mulekenga Katonda ye abanga awoolera eggwanga. Mu byawandiikibwa, Mukama agamba nti:
“Okuwoolera eggwanga kwange,
nze ndisasula.”#Laba ne Ma 32:35
20N'olwekyo, era ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba:
“Omulabe wo bw'alumwanga enjala,
omuwanga ekyokulya n'alya,
era bw'alumwanga ennyonta
omuwanga ekyokunywa n'anywa.
Bw'okola bw'otyo,
olimuleetera okuwulira ennyo ensonyi.#12:20: Olimuleetera okuwulira ennyo ensonyi: Mu Luyonaani, “Olimukumira amanda ku mutwe gwe.”#Laba ne Nge 25:21-22
21Towangulwanga bibi bikukolebwa balala, naye ggwe biwangulenga ng'okola ebirungi.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.