ABAROOMA 11
11
Ekisa kya Katonda eri Abayisirayeli
1Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Nedda si bwe kiri. Nange ndi Muyisirayeli, muzzukulu wa Aburahamu, era ndi wa mu kika kya Benyamiini.#Laba ne Baf 3:5 2Katonda abantu be, be yamanya edda, teyabeegoberako ddala. Temumanyi ekyawandiikibwa kye kigamba ku Eliya, bwe yasaba Katonda ng'ayogera ku Bayisirayeli? Yagamba nti: 3“Mukama, batta abalanzi bo, ne boonoona ebifo byo eby'ebitambiro. Nze nzekka nze nsigaddewo, era nange banoonya okunzita.”#Laba ne 1 Bassek 19:10,14 4Kyokka Katonda yamuddamu atya? Nti: “Neeterekeddewo abantu kasanvu, abatafukaamiriranga Baali.”#Laba ne 1 Bassek 19:18
5Era bwe kiri ne mu biseera bino. Waliwo abasigaddewo, abaalondebwamu olw'ekisa kya Katonda. 6Katonda yabalondamu lwa kisa kye, si lw'ebyo bye baakola. Singa yabalondamu lw'ebyo bye baakola, ekisa kye kyandibadde tekikyali kisa.
7Kale tugambe tutya? Abayisirayeli baalemwa okufuna ekyo kye baali banoonya. Abatono abalondemu be baakifuna. Naye abalala emitima gyabwe gyakakanyazibwa, 8nga bwe kyawandiikibwa nti: “Katonda yabawa omwoyo ogutaliimu magezi. Yabawa amaaso agatalaba, n'amatu agatawulira okutuusa ku lunaku lwaleero.”#Laba ne Ma 29:4; Yis 29:10 9Ne Dawudi agamba nti:
“Ekijjulo kyabwe
kibafuukire omutego n'ekigu,
enkonge n'ekibonerezo.#Laba ne Zab 69:22-23
10Amaaso gaabwe gasiikirizibwe
baleme okulaba,
n'emigongo gyabwe
ogikutamye ennaku zonna.”
11Kale ka mbuuze: Abayudaaya beesittala balyoke bagwe bazikirire? Nedda, si bwe kiri. Naye okwonoona kwabwe kwaleetera ab'amawanga amalala okulokolebwa, bo Abayudaaya balyoke bakwatibwe obuggya. 12Naye oba nga okwonoona kwabwe kwaweesa ensi emikisa mingi, kale bonna bwe balidda eri Katonda emikisa tegirisingawo obungi?
Okulokolebwa kw'ab'amawanga amalala
13Kaakano ŋŋamba mmwe ab'amawanga amalala: nga bwe ndi omutume eri ab'amawanga amalala, nzisaamu omulimu gwange ekitiibwa, 14nga ngezaako okukwasisa ab'eggwanga lyange obuggya, ndyoke ndokole abamu ku bo. 15Bwe baagobebwa, ensi yatabagana ne Katonda. Kale bwe balikomezebwawo, kiriba kitya? Buliba bulamu obuliggyawo okufa.
16Ekitole kyonna kiba kitukuvu, ekitundu kyakyo ekisooka bwe kitukuzibwa. Era ekikolo ky'omuti bwe kiba ekitukuvu, n'amatabi gaba matukuvu. 17Naye oba ng'amatabi agamu ag'omuti omuzayiti ogw'omu nnimiro gaawogolwako, ggwe eyali ettabi ery'omuti omuzayiti ogw'omu nsiko n'osimbibwa mu kifo kyago, n'ogabana ku bugimu bw'omuti ogwo, 18leka kwewaana nti amatabi ago ogasinga. Bwe weewaana, jjukira nti si ggwe owaniridde ekikolo, wabula ekikolo kye kikuwaniridde.
19Naye oyinza okugamba nti: “Amatabi gaawogolwako, nze ndyoke nsimbibweko.” 20Weewaawo, gaawogolwako lwa butakkiriza bwago, naye ggwe ekikuyimirizzaawo kwe kukkiriza. N'olwekyo teweewaana, wabula tya weerinde. 21Kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi agaazaalibwa ku muti ogwo, era naawe talikusaasira.
22Kale manya ekisa n'obukambwe bwa Katonda. Akambuwalira abo abagudde n'akwatirwa ggwe ekisa, kasita onywerera ku kisa kye. Naye bw'otolikinywererako, naawe oliwogolebwako. 23Era n'Abayudaaya bwe baliba tebalemedde mu butakkiriza bwabwe, balizzibwako ku muti, kubanga Katonda asobolera ddala okubazzaako. 24Kuba oba nga ggwe, mu nkula yo, eyali ettabi ly'omuti omuzayiti ogw'omu nsiko, wasalibwa n'osimbibwa ku muti omuzayiti ogw'omu nnimiro ogutali gwa nkula yo, amatabi agaazaalibwa ku muti ogwo tegaliba mangu nnyo okuzzibwa ku muti gwago?
Katonda akwatirwa abantu bonna ekisa
25Abooluganda, njagala mumanye ekyama kino, mulemenga okwewaanawaana. Abayisirayeli abamu baasigala bakakanyavu, okutuusa ab'amawanga amalala bonna lwe balimala okujja eri Katonda. 26Olwo n'Abayisirayeli bonna balirokolebwa, nga bwe kyawandiikibwa nti:
“Omulokozi alisibuka mu Siyooni,
aliggya bazzukulu ba Yakobo
mu byonoono byabwe.#Laba ne Yis 59:20
27Era eyo y'eriba
endagaano yange nabo,
bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”#Laba ne Yer 31:33-34
28Bo, mu bikwata ku Mawulire Amalungi, baba balabe ba Katonda, mmwe mulyoke mugasibwe. Naye mu bikwata ku kulondebwamu, baba baagalwa ba Katonda olwa bajjajjaabwe. 29Katonda bw'agabira abantu oba bw'abayita, teyejjusa. 30Nammwe edda mwajeemera Katonda, kyokka kaakano mwakwatirwa ekisa olw'obujeemu bw'Abayudaaya. 31Kaakano nabo bajeemye, balyoke bakwatirwe ekisa ekyakwatirwa mmwe. 32Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu, alyoke akwatirwe bonna ekisa.
Okutendereza Katonda
33Ddala, obugagga bwa Katonda n'amagezi ge, n'okumanya kwe nga tebikoma! By'ateesa nga tebyefumiitirizika! Engeri ze nga tezitegeerekeka!#Laba ne Yis 55:8 34Ekyawandiikibwa kigamba nti:
“Ani yali amanye
Mukama by'alowooza?
Ani yali amuwadde amagezi?#Laba ne Yis 40:13
35Oba ani yali amuwadde
ekirabo naye alyoke amuddize?”#Laba ne Yob 41:11
36Byonna ye yabitonda, ye abibeezaawo, era bibeerawo ku lulwe. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.#Laba ne 1 Kor 8:6
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.