EBIKOLWA 22
22
1“Abasajja abooluganda era bassebo, muwulire ensonga gye mbawoleza kaakano.” 2Bwe baawulira ng'ayogera Lwebureeyi, ne beeyongera okusirika. N'agamba nti:
3“Nze ndi Muyudaaya, enzaalwa y'omu Taruso eky'omu Kilikiya. Nakulira mu kibuga kino, ne njigirizibwa omusomesa Gamaliyeeli okukwata amateeka ga bajjajjaffe, ne njijumbira nnyo ebya Katonda, nga nammwe mwenna bwe mukola kati.#Laba ne Bik 5:34-39 4Ne njigganya ab'Ekkubo eryo okutuuka ne ku kubatta. Ne nkwata abasajja n'abakazi, ne mbateeka mu kkomera.#Laba ne Bik 8:3; 26:9-11 5Ssaabakabona n'abantu abakulu mu ggwanga bayinza okunjulira mu ekyo. Bo bampa n'ebbaluwa nzitwalire bannaabwe ab'omu Damasiko. Ne ŋŋenda okukwata abantu abo, mbaleete e Yerusaalemu nga basibe, babonerezebwe.
Pawulo ayogera ku kukyuka kwe
(Laba ne Bik 9:1-19; 22:12-18)
6“Awo olwatuuka, bwe nali nga ntambula, nga nnaatera okutuuka e Damasiko nga mu ttuntu, amangwago okwakaayakana okw'amaanyi okwava mu ggulu ne kunneetooloola. 7Ne ngwa wansi, ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba nti: ‘Sawulo, Sawulo! Lwaki onjigganya?’ 8Ne nziramu nti: ‘Ggwe ani Mukama wange?’ N'aŋŋamba nti ‘Nze Yesu Omunazaareeti gw'oyigganya.’ 9Abantu abaali nange ne balaba okwakaayakana okw'amaanyi kyokka ne batawulira ddoboozi ly'oyo eyayogera nange. 10Ne ŋŋamba nti: ‘Nkole ki Mukama wange?’ Awo Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Golokoka ogende e Damasiko, eyo gy'onootegeerezebwa byonna by'olagiddwa okukola.’ 11Okwakaayakana okw'amaanyi ne kunziba amaaso. Abaali nange ne bankwata ku mukono, ne bantuusa mu Damasiko.
12“Mu Damasiko mwalimu omusajja erinnya lye Ananiya, omwegendereza mu kukwata amateeka, era assibwamu ekitiibwa Abayudaaya baayo bonna. 13N'ajja n'ayimirira we ndi, n'agamba nti: ‘Owooluganda Sawulo, zibuka amaaso.’ Mu kiseera ekyo kyennyini amaaso gange ne gazibuka, ne mmulaba. 14N'agamba nti: ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere ky'ayagala, olabe Omutuukirivu we, era owulire eddoboozi lye, 15kubanga ojja kumumanyisa mu bantu bonna ng'obategeeza ebyo by'owulidde era ne by'olabye. 16Kale kaakano lwaki olwa? Situka obatizibwe, onaazibweko ebibi byo nga weegayirira Katonda.’
Pawulo n'ab'amawanga amalala
17“Bwe nali nga nkomyewo e Yerusaalemu era nga ndi mu Ssinzizo nsinza ne ndabikirwa nga ndi ng'aloota, 18ne ndaba Mukama ng'aŋŋamba nti: ‘Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemu, kubanga abaamu tebajja kukkiriza by'obategeeza ku lwange.’ 19Ne nziramu nti: ‘Mukama wange, bo bennyini bamanyi nti abakukkiriza nabateekanga mu kkomera era nga nabakubiranga mu makuŋŋaaniro. 20N'omujulirwa wo Siteefano bwe yattibwa, nange kennyini naliwo, era nassa kimu n'abo abaamutta, ne nkuuma n'engoye zaabwe.’#Laba ne Bik 7:58 21Ye n'aŋŋamba nti: ‘Genda, kubanga njija kukutuma wala mu b'amawanga amalala.’ ” 22Abantu baamuwuliriza okutuusa lwe yayogera ekigambo ekyo. Olwo ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga bagamba nti: “Muggyeewo, kubanga omuntu ow'engeri eyo tasaanidde kuba mulamu!”
23Bwe beeyongera okuleekaana nga bwe bakasuka n'engoye zaabwe waggulu, era nga bwe bafuumuula enfuufu mu bbanga, 24omukulu w'abaserikale n'alagira batwale Pawulo mu kigo bamukubise embooko eriko amalobo agasuna, bazuule kye bamuvunaana, nga baleekaana bwe batyo.
25Pawulo bwe baamala okumusiba n'enkoba, n'abuuza omukulu w'ekibinja ky'abaserikale eyali ayimiridde awo nti: “Mukkirizibwa okukuba omuntu Omurooma nga tannasalirwa musango kumusinga?” 26Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale olwawulira ekyo, n'agenda eri omukulu w'abaserikale n'amugamba nti: “Ogenda kukola ki? Omusajja ono Murooma.”
27Awo omukulu w'abaserikale n'agenda eri Pawulo n'amugamba nti: “Mbuulira, oli Murooma?” Pawulo n'addamu nti: “Weewaawo.” 28Omukulu w'abaserikale n'addamu nti: “Nze okufuna Oburooma kyantwalako ebintu bingi.” Pawulo n'amugamba nti: “Nze nazaalibwa ndi Murooma.” 29Amangwago, abo abaali bagenda okumubonyaabonya ne bamuleka, n'omukulu w'abaserikale bwe yamala okutegeera nti asibye Omurooma, n'atya.
Pawulo mu maaso g'Olukiiko
30Ku lunaku olwaddirira, omukulu w'abaserikale n'ayagala okumanya ensonga Abayudaaya gye bavunaana Pawulo. Kwe kumusumulula, era n'alagira bakabona abakulu n'ab'Olukiiko bonna okukuŋŋaana. N'aserengesa Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.