EBIKOLWA 21

21
Pawulo agenda e Yerusaalemu
1Bwe twamala okwawukana nabo, ne tusaabala, ne tuseeyeeya butereevu okutuuka e Koosi. Ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Roodesi. Bwe twava eyo, ne tutuuka e Patara. 2Eyo gye twasanga eryato eryali liraga e Foyinikiya, ne tulisaabala ne tugenda. 3Bwe twalengera Kipuro, ne tukireka ku luuyi olwa kkono, ne tulaga e Siriya, ne tugoba e Tiiro, kubanga eyo gye baali baagala okutikkulira ebintu. 4Eyo twasangayo abayigirizwa, ne tumalayo ennaku musanvu. Ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, abo ne bagamba Pawulo aleme kugenda Yerusaalemu. 5Ennaku ezo bwe zaggwaako, ne tuvaayo. Bonna awamu n'abakazi n'abaana ne batuwerekerako okututuusa ebweru w'ekibuga. Ffenna ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja ne twegayirira Katonda. 6Ne tusiibulagana, ffe ne tusaabala mu lyato, bo ne baddayo ewaabwe.
7Bwe twamaliriza olugendo olw'oku nnyanja lwe twatandikira e Tiiro, ne tutuuka e Putolemaayi, ne tulamusa abooluganda, ne tumala nabo olunaku lumu. 8Ku lunaku olwaddirira ne tuvaayo, ne tutuuka e Kayisaariya. Ne tuyingira mu nnyumba ya Filipo, eyategeezanga abantu Amawulire Amalungi, ne tubeera naye. Yali omu ku abo omusanvu abaalonderwa mu Yerusaalemu.#Laba ne Bik 6:5; 8:5 9Yalina bawala be bana embeerera abaalanganga. 10Bwe twamalayo ennaku eziwerako, Agabo omulanzi n'atuuka ng'ava e Buyudaaya.#Laba ne Bik 11:28 11N'ajja gye tuli, n'akwata olukoba lwa Pawulo, n'alwesiba amagulu n'emikono, n'agamba nti: “Mwoyo Mutuukirivu agamba nti: ‘Bwe batyo Abayudaaya abali e Yerusaalemu bwe balisiba nnannyini lukoba luno, era balimuwaayo eri ab'amawanga amalala.’ ”
12Bwe twawulira ekyo, ffe n'abalala bonna abaaliwo, ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemu. 13Kyokka ye n'addamu nti: “Lwaki mukaaba okunafuya omutima gwange? Nze neetegese si kusibibwa kwokka, wabula n'okufiira mu Yerusaalemu, olw'erinnya lya Mukama Yesu.” 14Bwe twalemwa okumukkirizisa, ne tumuleka ne tugamba nti: “Mukama ky'ayagala kikolebwe.”
15Bwe waayitawo ennaku, ne twetegeka ne twambuka e Yerusaalemu. 16Abamu ku bayigirizwa ab'omu Kayisaariya ne batuwerekera, ne batutuusa ew'omusajja ayitibwa Munasoni, ow'e Kipuro, omu ku bayigirizwa abaasooka, eyali ow'okutusuza.
Pawulo akyalira Yakobo
17Bwe twatuuka e Yerusaalemu, abayigirizwa ne batwaniriza n'essanyu. 18Olunaku olwaddirira, Pawulo n'agenda wamu naffe ewa Yakobo. Abakulu bonna ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo baali bakuŋŋaanye. 19Pawulo bwe yamala okubalamusa, n'abategeeza byonna Katonda bye yamukozesa mu b'amawanga amalala. 20Bo bwe baabiwulira, ne bagulumiza Katonda. Kyokka ne bagamba Pawulo nti: “Owooluganda, naawe olaba nti waliwo Abayudaaya nkumi na nkumi abaakyuka ne bakkiriza era nga bonna bakyakuuma butiribiri amateeka ga Musa. 21Bawulidde nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu mawanga amalala okuleka amateeka ga Musa, era nti obagamba baleme okukomola abaana baabwe, wadde okugoberera empisa z'Ekiyudaaya. 22Kale bibe bitya? Tebaaleme kuwulira ng'ozze. 23N'olwekyo kola kino kye tukugamba. Tulina wano abasajja bana abeeyama obweyamo.#Laba ne Kubal 6:13-21 24Batwale weetabe wamu nabo mu mukolo ogw'okutukuzibwa, era obasasulire, balyoke bamwebwe enviiri. Olwo abantu bonna banaamanya nti bye baawulira ku ggwe si bituufu, wabula nti okwata amateeka ga Musa. 25Naye ab'amawanga amalala abakkiriza, twabawandiikira ne tubategeeza kye twasalawo nti baleme kulyanga biweereddwayo eri balubaale, wadde okulya omusaayi, oba ensolo etugiddwa, era beewale obwenzi.”#Laba ne Bik 15:29
26Awo Pawulo n'atwala abasajja abo. Ku lunaku olwaddirira ne yeetaba wamu nabo mu mukolo ogw'okutukuzibwa. N'ayingira mu Ssinzizo okumanyisa ennaku ze banaamala mu kutukuzibwa, era n'ekiseera we banaaweerayo ekirabo ku lwa buli omu ku bo.
Pawulo akwatirwa mu Ssinzizo
27Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okuggwaako, Abayudaaya abamu abaava mu Asiya, ne balaba Pawulo ng'ali mu Ssinzizo. Ne basasamaza abantu bonna, ne bakwata Pawulo 28nga bwe baleekaana nti: “Abasajja Abayisirayeli, mutuyambe! Ono ye muntu agenda ng'ayigiriza abantu mu buli kifo, banyoomoole eggwanga lyaffe, n'amateeka ga Musa, era n'ekifo kino. Ate kaakano aleese n'Abayonaani mu Ssinzizo, n'ayonoona ekifo kino ekitukuvu.” 29Ekyo baakyogera kubanga baali balabye Turofimo ow'e Efeso ng'ali ne Pawulo mu kibuga, ne bateerera nti Pawulo amuyingizizza mu Ssinzizo.#Laba ne Bik 20:4
30Ekibuga kyonna ne kitabanguka, abantu ne bagugumuka ne bakwata Pawulo ne bamuwalaawala, ne bamufulumya ebweru w'Essinzizo. Amangwago enzigi ne ziggalwawo. 31Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka eri omukulu w'abaserikale nti Yerusaalemu kyonna kijagaladde. 32Teyalwa, n'atwala abaserikale n'abakulu baabwe, n'aserengeta eri ekibiina ky'abantu. Bo bwe baamulaba ng'ali n'abaserikale, ne balekera awo okukuba Pawulo. 33Omukulu w'abaserikale n'agenda eri Pawulo n'amukwata, n'alagira asibibwe n'enjegere bbiri. N'abuuza nti: “Ono ye ani, era akoze ki?” 34Abamu mu kibiina ky'abantu ne baleekaana nga bagamba kino, abalala nga bagamba kirala. Olw'okuleekaana okwo, n'atasobola kumanya kituufu. N'alagira okutwala Pawulo mu kigo. 35Pawulo bwe yatuusibwa ku madaala, abaserikale ne bamusitula, kubanga abantu baali beetabangudde. 36Bonna baali bamugoberera nga bwe baleekaana nti: “Mutte!”
Pawulo yeerwanako
37Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu kigo, n'agamba omukulu w'abaserikale nti: “Onzikiriza mbeeko kye nkutegeeza?” Omukulu w'abaserikale n'amubuuza nti: “Omanyi Oluyonaani? 38Si ggwe Mumisiri oli eyaleeta akajagalalo mu nnaku ezo, n'atwala abantu abatemu enkumi ennya mu ddungu?” 39Pawulo n'addamu nti: “Nze ndi Muyudaaya, enzaalwa y'omu Taruso eky'omu Kilikiya, ekimanyiddwa obulungi. Nkwegayiridde, nzikiriza mbeeko kye ŋŋamba abantu.”
40Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala, n'abawenya n'omukono. Bwe baasiriikirira, n'ayogera nabo mu lulimi Olwebureeyi, n'agamba nti:

선택된 구절:

EBIKOLWA 21: LBwD03

하이라이트

복사

비교

공유

None

모든 기기에 하이라이트를 저장하고 싶으신가요? 회원가입 혹은 로그인하세요