EBIKOLWA 20

20
Pawulo mu Efeso
1Akeegugungo bwe kakkakkana, Pawulo n'atumya abakkiriza n'abagumya, n'abasiibula, n'avaayo n'agenda e Makedooniya. 2Bwe yamala okuyita mu bitundu ebyo, ng'agenda ababuulira ebigambo eby'okubagumya, n'atuuka e Buyonaani, 3n'amalayo emyezi esatu. Bwe yali ng'anaatera okusaabala okugenda e Siriya, Abayudaaya ne bamusalira olukwe, kyeyava asalawo okuyita e Makedooniya. 4N'awerekerwako Sopateri mutabani wa Puuro ow'e Beroya, ne Arisitaruuko ne Sekundo ab'e Tessalonika, ne Gaayo ow'e Derube, ne Timoteewo, ne Tukiko ne Turofimo ab'omu Asiya. 5Abo ne batukulembera ne batulinda mu Turoowa. 6Ennaku ez'emigaati egitazimbulukusiddwa bwe zaggwa, ne tusaabala okuva e Filippi. Bwe waayitawo ennaku ttaano, ne tubasisinkana mu Turoowa, gye twamala ennaku omusanvu.
Okukyala kwa Pawulo okusembayo mu Turoowa
7Awo ku lunaku olwaddirira Sabbaato, bwe twakuŋŋaana okuliira awamu ng'abooluganda Pawulo nga bwe yali ow'okusitula enkeera, n'alwawo ng'ayogera nabo okutuusa ettumbi.#20:7: Laba ebinnyonnyola ku 2:42 8Mu kisenge mwe twakuŋŋaanira mwalimu ettaala nnyingi. 9Pawulo bwe yalwawo ng'ayogera, omulenzi erinnya lye Ewutuuko, eyali atudde mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi, n'awanuka mu kalina eyookusatu n'agwa wansi, ne bamuggyawo ng'afudde. 10Pawulo n'akka, n'akutama w'ali n'amuwambaatira, n'agamba nti: “Temweraliikirira, akyalimu obulamu.” 11Awo n'addayo waggulu, n'amenyaamenyamu omugaati n'alyako, n'ayogera nabo okutuusiza ddala obudde okukya, n'alyoka avaayo. 12Omulenzi ne bamuggyawo nga mulamu, ne basanyuka nnyo.
Pawulo ava e Turoowa okugenda e Mileeto
13Ffe ne tusaabala mu lyato, ne tulaga mu Asso gye twali ab'okuggya Pawulo nga bwe yatulagira, kubanga ye yali wa kutuukayo ng'ayita ku lukalu. 14Bwe yatusisinkana mu Asso, n'asaabala mu lyato ne tugenda e Mituleene. 15Ne tusaabala ne tuvaayo. Ku lunaku olwaddirira ne tutuuka mu maaso ga Kiyo. Ate olwaddako ne tutuuka e Samo, enkeera ne tutuuka e Mileeto. 16Pawulo yali ateesezza okuyita mu Efeso, aleme kulwa mu Asiya. Yayagala ayanguwe, Pentekoote bwe kiba kisobose, emusange mu Yerusaalemu.
Pawulo asiibula abakulu ab'omu Efeso
17Awo Pawulo bwe yali mu Mileeto, n'atumya mu Efeso, n'ayita abakulu b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo bamusisinkane. 18Bwe bajja, n'abagamba nti: “Mumanyi bulungi nga bwe nabeera nammwe okuviira ddala ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya. 19Naweereza Mukama n'obwetoowaze bwonna, era mumanyi nga bwe nabonaabona ennyo olw'enkwe Abayudaaya ze bansaliranga. 20Mumanyi nga tewali kya mugaso na kimu kye saababuulira, era kye saabayigiriza mu maaso g'abantu bonna ne mu maka gammwe. 21Nalabulanga Abayudaaya n'Abayonaani bakyuke okuva mu bibi byabwe, badde eri Katonda, era bakkirize Mukama waffe Yesu. 22Kaakano ŋŋenda e Yerusaalemu, nga mpalirizibwa mu mwoyo, nga simanyi birimbaako. 23Wabula Mwoyo Mutuukirivu antegeeza mu buli kibuga nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde. 24Naye sifaayo oba mba mulamu oba nfa, ekikulu kwe kutuukiriza omulimu Mukama Yesu gwe yankwasa, ogw'okutegeeza abantu Amawulire Amalungi ag'ekisa kya Katonda.#Laba ne 2 Tim 4:7
25“Kaakano nze mmanyi nga mmwe mwenna, be nayitaayitangamu nga mbategeeza Obwakabaka bwa Katonda, temukyaddayo kundaba. 26Kyenva mbalumiriza, olwaleero nti bwe walibaawo azikirira, teguliba musango gwange, 27kubanga saagayaala. Nabategeeza byonna Katonda by'abaagaza. 28Mwekuume mmwe mwennyini, mukuume n'abantu bonna Mwoyo Mutuukirivu be yabakwasa. Mulabirirenga ekibiina ky'abakkiriza Kristo, Katonda kye yeefunira n'omusaayi ogugwe yennyini.
29“Mmanyi nti bwe ndivaawo, abantu abali ng'emisege emikambwe baliyingira mu mmwe, ne batasaasira kibiina ky'abakkiriza. 30Ne mu mmwe mulivaamu abantu abaliyigiriza eby'obulimba, basikirize abayigirizwa okubagoberera. 31Kale mwekuume, era mujjukire nga bwe namala emyaka esatu, nga siyosa ekiro n'emisana okubuulirira buli omu mu mmwe, nga bwe nkaaba n'amaziga.
32“Kaakano mbakwasa Katonda abakuume, n'ekigambo ekifa ku kisa kye kibayambenga kibazimbe, era kibafunyise omugabo awamu n'abo bonna abatukuzibwa. 33Seegombanga ffeeza oba zaabu, wadde kyambalo kya muntu n'omu. 34Mmwe mumanyi ng'emikono gyange gino, gye gyakolanga ebyo nze n'abo abaabanga nange bye twetaaganga. 35Ebyo byonna nabikola okubalaga nti bwe tutyo bwe tusaana okukolanga emirimu, tulyoke tuyambenga abateeyinza, nga tujjukira ebigambo bya Mukama Yesu, eyagamba nti: ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
36Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n'afukamira nabo bonna, ne beegayirira Katonda. 37Bonna ne bakaaba nnyo amaziga, ne bawambaatira Pawulo, ne bamunywegera. 38Ekyasinga okubanakuwaza kwe kubagamba nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okumutuusa ku lyato.

선택된 구절:

EBIKOLWA 20: LBwD03

하이라이트

복사

비교

공유

None

모든 기기에 하이라이트를 저장하고 싶으신가요? 회원가입 혹은 로그인하세요