EBIKOLWA 19
19
Pawulo mu Efeso
1Awo Apollo bwe yali mu Korinto, Pawulo n'ayita mu bitundu eby'engulu, n'atuuka mu Efeso, n'asangayo abamu ku bakkiriza. 2N'ababuuza nti: “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutuukirivu?” Ne bamuddamu nti: “Tetuwuliranganako nti waliwo ne Mwoyo Mutuukirivu.” 3Ye n'ababuuza nti: “Kale okubatizibwa kwammwe kwali kwa ngeri ki?” Ne bamuddamu nti: “Okwo Yowanne kwe yaleeta.” 4Pawulo n'abagamba nti: “Yowanne yabatiza abantu nga ke kabonero akalaga nti beenenyezza, ng'abagamba bakkirize oyo amuvaako emabega, ye Yesu.”#Laba ne Mat 3:11; Mak 1:4,7-8; Luk 3:4,16; Yow 1:26-27
5Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu. 6Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutuukirivu n'abakkako, ne boogera ennimi, ne balanga. 7Bonna awamu baali abasajja nga kkumi na babiri.
8Awo Pawulo n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayogera n'obuvumu, ng'awaanyisaganya nabo ebirowoozo, ng'agezaako okubakkirizisa ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda. N'amala emyezi esatu ng'akola bw'atyo. 9Naye abamu bwe bafuuka abakakanyavu ne bagaana okukkiriza, era ne bavumanga Ekkubo lya Mukama mu maaso g'abantu, n'abavaako, n'agenda n'abayigirizwa, n'ayogereranga mu ssomero lya Turaano buli lunaku. 10N'akolanga bw'atyo okumala emyaka ebiri. Abantu bonna ab'omu Asiya, Abayudaaya n'Abayonaani, ne bawulira ekigambo kya Mukama.
Abaana ba Sukeva
11Katonda n'akozesanga Pawulo ebyamagero bingi. 12Ebitambaala n'engoye ebyavanga ku mubiri gwe byatwalirwanga abalwadde ne bawonyezebwa, n'emyoyo emibi ne gibavaako. 13Awo Abayudaaya abamu abaatambulatambulanga nga bagoba emyoyo emibi ku bantu, ne beetulinkiriza okukozesa erinnya lya Mukama Yesu okugigoba, nga bagigamba nti: “Nkulagira mu linnya lya Yesu, Pawulo gw'ategeeza abantu.”
14Waaliwo abaana musanvu aba kabona omukulu Omuyudaaya, erinnya lye Sukeva, abaakola ekyo. 15Naye omwoyo omubi ne gubaddamu nti: “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe be ani?” 16Awo omuntu eyaliko omwoyo omubi n'ababuukira, n'abasinza amaanyi n'abawangula, ne badduka nga bali bwereere, nga baliko ebiwundu.
17Ekyo ne kimanyibwa abantu bonna, Abayudaaya n'Abayonaani ab'omu Efeso. Bonna ne bajjula entiisa, erinnya lya Mukama Yesu ne liweebwa ekitiibwa. 18Bangi ku bakkiriza ne bajja, ne beenenya ebibi byabwe mu lwatu. 19Era bangi ku abo abaakolanga eby'obulogo ne bakuŋŋaanya wamu ebitabo byabwe, ne babyokya ng'abantu bonna balaba. Omuwendo gw'ensimbi ezibigula bwe gwabalirirwa, ne guweza ebitundu bya ffeeza emitwalo etaano. 20Bwe kityo ekigambo kya Mukama ne kigenda nga kyeyongera okubuna n'okunywera.
21Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ateesa okuyita mu Makedooniya ne mu Akaya, alyoke agende e Yerusaalemu. N'agamba nti: “Bwe ndimala okutuukayo, nteekwa okugenda n'e Rooma.” 22N'atuma e Makedooniya babiri ku abo abaamuyambanga, Timoteewo ne Erasto, kyokka ye n'agira ng'akyasigadde mu Asiya.
Akeegugungo mu Efeso
23Mu kiseera ekyo ne wabaawo akeegugungo ak'amaanyi mu Efeso, olw'Ekkubo lya Mukama. 24Omusajja ayitibwa Demetiriyo omuweesi, eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa lubaale omukazi Arutemi, omulimu gwe gwaleeteranga abaweesi obugagga bungi. 25Oyo n'akuŋŋaanya abaweesi bonna abaakolanga omulimu ogwo, n'agamba nti: “Bannange, mumanyi ng'obugagga bwaffe buva mu mulimu guno. 26Naye mulaba era muwulira nga Pawulo asenzesenze, era akyusizza abantu bangi, si mu Efeso mwokka naye ne mu Asiya yonna, ng'agamba nti: ‘Abakolebwa abantu si Katonda.’ 27Tuli mu kabi, si lwa mulimu gwaffe kunyoomebwa kyokka, naye abantu bajja kunyoomoola essabo lya lubaale omukazi Arutemi oweekitiibwa, asinzibwa Asiya yonna n'ensi endala zonna, era ekitiibwa kye kijja kuggwaawo.”
28Bwe baawulira ebyo ne bajjula obusungu, ne baleekaana nti: “Arutemi w'Abeefeso mukulu!” 29Awo ekibuga kyonna ne kibuna akatabanguko. Abantu ne bakwata Gaayo ne Arisitaruuko ab'e Makedooniya abaatambulanga ne Pawulo. Abantu bonna ne bafubutuka, ne beeyiwa mu kifo ky'emizannyo. 30Pawulo n'ayagala okugenda eri ekibiina ky'abantu, kyokka abayigirizwa ne bamugaana. 31N'abamu ku bakungu ab'omu Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamusaba aleme kugezaako kugenda mu kifo ky'emizannyo, 32kubanga abantu baali mu kajagalalo, nga baleekaana, abamu nga boogera kino, abalala nga boogera kiri, era bangi baali tebamanyi na nsonga ebakuŋŋaanyizza. 33Ne baggya Alekizanda mu kibiina ky'abantu, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Awo Alekizanda n'abawenya n'omukono, yennyonnyoleko eri abantu. 34Naye bwe baamanya nga Muyudaaya ne baleekaanira wamu okumala essaawa nga bbiri, nga bagamba nti: “Arutemi w'Abeefeso mukulu!”
35Omuwandiisi w'ekibuga bwe yasirisa abantu, n'agamba nti: “Abasajja Abeefeso, ani atamanyi ng'ekibuga ky'Abeefeso kye kikuuma essabo lya Arutemi Oweekitiibwa, awamu n'ekifaananyi kye ekyava mu ggulu? 36Kale ekyo nga bwe watali ayinza kukiwakanya, musaanidde okukkakkana, muleme kukola kintu kyonna mu kwanguyiriza, 37kubanga muleese abantu bano abatanyaze bya mu ssabo, era abatavumye lubaale waffe omukazi. 38Kale oba nga Demetiriyo ne baweesi banne balina gwe bavunaana, enkiiko weeziri n'abalamuzi weebali, eyo gye baba bawoleza. 39Naye oba nga mulina ekirala kye muvunaana, kinaatereezebwa mu lukuŋŋaana olubaawo bulijjo, 40kubanga tuyinza okuvunaanibwa olw'akeegugungo kano aka leero. Tetulina nsonga gye tuyinza kuwa olw'olukuŋŋaana luno.” 41Bwe yamala okwogera ebyo, n'agumbulula abantu.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.