EBIKOLWA 18

18
Pawulo mu Korinto
1Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ava mu Ateene, n'agenda e Korinto. 2N'asangayo Omuyudaaya erinnya lye Akwila, enzaalwa y'omu Ponto, ne mukazi we Prisikila. Baali kye bajje bave mu Yitaliya, kubanga Kulawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna bave mu Rooma. Pawulo n'agenda gye bali, 3n'abeera nabo, era n'akola nabo, kubanga bonna baalina omulimu gwe gumu, ogw'okukola eweema. 4Buli Sabbaato Pawulo n'awaanyisaganyizanga ebirowoozo mu kkuŋŋaaniro, ng'agezaako okukkirizisa Abayudaaya n'Abayonaani.
5Siila ne Timoteewo bwe baatuuka nga bava mu Makedooniya, Pawulo ne yeemalira ku kutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, ng'ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye Kristo. 6Bwe baamukaayanya era ne bamuvuma, n'akunkumula engoye ze n'abagamba nti: “Bwe mulizikirira, musango gwammwe. Nze siriiko musango. Okuva kati nja kugenda eri ab'amawanga amalala.” 7N'avaayo, n'alaga mu nnyumba y'omuntu erinnya lye Tito Yusto, assaamu Katonda ekitiibwa. Ennyumba ye yali eriraanye ekkuŋŋaaniro. 8Krispo omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bakkiriza Mukama. Era ab'e Korinto bangi abaawulira, ne bakkiriza ne babatizibwa.
9Awo Mukama n'alabikira Pawulo ekiro, n'amugamba nti: “Totya, weeyongere okwogera, tosirika. 10Nze ndi wamu naawe. Tewali ajja kukukola kabi, kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno.” 11Awo Pawulo n'amalayo omwaka mulamba n'ekitundu ng'ayigiriza abantu ekigambo kya Katonda.
12Galiyo bwe yali nga ye afuga Akaya, Abayudaaya ne beekoba, ne bakwata Pawulo ne bamutwala mu mbuga, 13ne bagamba nti: “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri emenya amateeka.” 14Kyokka Pawulo yali agenda okwogera, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti: “Singa wabaddewo ekisobyo oba omusango omunene, nandisobodde okubawuliriza mmwe Abayudaaya, 15naye oba ng'ebyebuuzibwa bifa ku bigambo, ne ku mannya, ne ku mateeka gammwe, mmwe mubikoleko, nze sijja kubiyingiramu.” 16N'abagoba awasalirwa emisango. 17Awo bonna ne bakwata Sositene, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo n'atafaayo.
Pawulo addayo mu Antiyookiya
18Pawulo n'amala ennaku nnyingi mu Korinto. Oluvannyuma n'asiibula abooluganda, n'asaabala ne Prisikila ne Akwila, ne bagenda e Siriya. Bwe yali mu Kenkereya, n'amwako enviiri ze, nga bwe yali yeeyamye.#Laba ne Kubal 6:1 19Bwe baatuuka mu Efeso, bo n'abalekayo, ye n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'akubaganya ebirowoozo n'Abayudaaya. 20Bwe baamusaba ayongere okubeera nabo, n'atakkiriza. 21N'abasiibula, n'abagamba nti: “Katonda bw'alyagala, ndikomawo gye muli.” N'asaabala, n'ava mu Efeso.
22Bwe yatuuka e Kayisaariya, n'ayambuka n'alamusa ekibiina ky'abakkiriza Kristo, n'alyoka aserengeta mu Antiyookiya. 23Bwe yamalayo akabanga, n'avaayo n'agenda ng'ayitaayita mu Galatiya ne mu Furigiya, ng'anyweza abakkiriza bonna. 24Awo Omuyudaaya, erinnya lye Apollo, enzaalwa y'omu Alekisanderiya, n'ajja mu Efeso. Yali mwogezi mulungi, era ng'amanyi nnyo ebyawandiikibwa. 25Yali ayigiriziddwa Ekkubo lya Mukama, era yeewangayo nnyo okwogera n'okuyigiriza obulungi ebifa ku Yesu, wabula ng'amanyi kubatiza kwa Yowanne kwokka. 26Awo Prisikila ne Akwila bwe baamuwulira ng'ayogera n'obuvumu mu kkuŋŋaaniro, ne bamutwala ne bongera okumunnyonnyola obulungi Ekkubo lya Katonda. 27Apollo bwe yayagala okugenda mu Akaya, Abooluganda ne bamugumya, ne bawandiikira abayigirizwa baayo bamwanirize. Bwe yatuukayo, n'ayamba nnyo abo Katonda be yakwatirwa ekisa ne bafuna okukkiriza, 28kubanga yawakanyanga nnyo Abayudaaya, n'abasingira mu maaso g'abantu, ng'ajuliza mu byawandiikibwa, okukakasa nti Yesu ye Kristo.

선택된 구절:

EBIKOLWA 18: LBwD03

하이라이트

복사

비교

공유

None

모든 기기에 하이라이트를 저장하고 싶으신가요? 회원가입 혹은 로그인하세요