1
ABAROOMA 6:23
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Empeera y'ekibi kufa, naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo, bwe tufuna mu Kristo Yesu Mukama waffe.
비교
ABAROOMA 6:23 살펴보기
2
ABAROOMA 6:14
Ekibi tekikyabafuga, kubanga Amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa kya Katonda.
ABAROOMA 6:14 살펴보기
3
ABAROOMA 6:4
Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, ne tugabana ku kufa kwe, bwe tutyo nga Kristo bwe yazuukizibwa obuyinza bwa Kitaawe obwekitiibwa, naffe tubenga mu bulamu obuggya.
ABAROOMA 6:4 살펴보기
4
ABAROOMA 6:13
Era temuwangayo bitundu bya mibiri gyammwe eri ekibi, okubikozesa mu kwonoona, naye mweweeyo eri Katonda, ng'abantu abavudde mu kufa ne balamuka. Era mweweereyo ddala gy'ali, abakozesenga eby'obutuukirivu.
ABAROOMA 6:13 살펴보기
5
ABAROOMA 6:6
Tumanyi nti embeera yaffe ey'edda yakomererwa ku musaalaba wamu ne Kristo omubiri ogukola ekibi gulyoke guzikirizibwe, tuleme okuddamu okuba abaddu b'ekibi.
ABAROOMA 6:6 살펴보기
6
ABAROOMA 6:11
Bwe mutyo nammwe musaanye okwebala nti mufudde ne mwawukana n'ekibi, ne muba balamu eri Katonda, nga muli wamu ne Kristo Yesu.
ABAROOMA 6:11 살펴보기
7
ABAROOMA 6:1-2
Kale tunaagamba tutya? Tubeere mu kibi, ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? Nedda, tekisoboka. Ffe abaafa ne twawukanira ddala n'obulamu obw'ekibi, tuyinza tutya okubuddamu?
ABAROOMA 6:1-2 살펴보기
8
ABAROOMA 6:16
Temumanyi nti ekyo kye mwewa ne mukiwulira ng'abaddu, oba kibi ekireeta okufa, oba obuwulize obuleeta obutuukirivu, muba baddu baakyo?
ABAROOMA 6:16 살펴보기
9
ABAROOMA 6:17-18
Kyokka Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abaali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa. Kale bwe mwaggyibwa mu kibi, mwafuuka baddu ba Katonda, abagoberera obutuukirivu.
ABAROOMA 6:17-18 살펴보기