Logo de la Biblia App
Ícono Búsqueda

Ebyabaleevi Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kino kiyitibwa ekitabo kya Musa, Ebyabaleevi. Kijjudde ebiwandiiko bingi ebyawandiikibwa abantu abawerako naye ng’omukuŋŋaanya tategeerekeka. Ebiri mu kitabo kino byatandika okukuŋŋaanyizibwa mu kyasa eky’ekkumi n’ebisatu (13) bc, ne bikomekkerezebwa oluvannyuma lw’okuva mu buwaŋŋanguse bw’e Babulooni mu 587 okutuuka 538 bc. Ekitabo ky’Ebyabaleevi kyogera ku mateeka n’obulombolombo bw’Abaleevi. Kyogera ku Katonda n’engeri gye yakolaganangamu ne Isirayiri mu mateeka, ge yassaawo. Omulamwa omukulu ogw’ekitabo kino bwe butukuvu bwa Katonda. Noolwekyo kigwanidde abantu ba Katonda okuba abatukuvu. Ekitabo kino kyawulibwamu ebitundu bino: amateeka g’okuwaayo ssaddaaka (Essuula 1–7); obwakabona (Essuula 8–10); amateeka ag’okutambulirangamu mu butukuvu (Essuula 11–15); olunaku olw’Okuliyirira (Essuula 16); okuba abatukuvu (Essuula 17–22); okukuuma Ssabbiiti ya Mukama n’okukwata embaga eziragirwa (Essuula 23–25); n’okugondera Mukama Katonda (Essuula 26–27).

Actualmente seleccionado:

Ebyabaleevi Ennyanjula: EEEE

Destacar

Copiar

Comparar

Compartir

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión