1
ENTANDIKWA 37:5
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Awo Yosefu n'aloota ekirooto. Bwe yakibuulira baganda be, ne beeyongera okumukyawa.
Sammenlign
Udforsk ENTANDIKWA 37:5
2
ENTANDIKWA 37:3
Yisirayeli yayagalanga Yosefu okusinga abaana be abalala bonna, kubanga gwe yazaala mu bukadde. N'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi.
Udforsk ENTANDIKWA 37:3
3
ENTANDIKWA 37:4
Baganda ba Yosefu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bw'ayagala bo bennyini, ne bamukyawa, ne batayinza kwogeranga naye bya mirembe.
Udforsk ENTANDIKWA 37:4
4
ENTANDIKWA 37:9
Yosefu era n'aloota ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be, n'agamba nti: “Naloose ekirooto ekirala, mwe nalabidde enjuba n'omwezi n'emmunyeenye kkumi n'emu nga binvuunamira.”
Udforsk ENTANDIKWA 37:9
5
ENTANDIKWA 37:11
Baganda ba Yosefu ne bamukwatirwa obuggya, naye kitaawe n'akuumanga ebyo Yosefu bye yayogera.
Udforsk ENTANDIKWA 37:11
6
ENTANDIKWA 37:6-7
N'abagamba nti: “Muwulire ekirooto kino kye naloose. Kale twabadde tusiba ebinywa by'eŋŋaano mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka, ne kyesimba. Ebinywa ebyammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa ekyange.”
Udforsk ENTANDIKWA 37:6-7
7
ENTANDIKWA 37:20
Kale mujje tumutte tumusuule mu bumu ku bunnya. Tuligamba nti: ‘Ensolo enkambwe ye yamulya,’ tulabe ebirooto bye bwe biriba.”
Udforsk ENTANDIKWA 37:20
8
ENTANDIKWA 37:28
Abasuubuzi Abamidiyaani bwe baali bayitawo, baganda ba Yosefu ne basika Yosefu ne bamuggya mu bunnya, ne bamutunda mu Bayisimayeli abo ebitundu amakumi abiri ebya ffeeza. Abo ne batwala Yosefu mu Misiri.
Udforsk ENTANDIKWA 37:28
9
ENTANDIKWA 37:19
Ne bagambagana nti: “Ssekalootera wuuyo ajja.
Udforsk ENTANDIKWA 37:19
10
ENTANDIKWA 37:18
Ne bamulengera ng'akyali wala, era bwe yali nga tannabatuukako, ne bamwekobera okumutta.
Udforsk ENTANDIKWA 37:18
11
ENTANDIKWA 37:22
Rewubeeni era n'agamba nti: “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala abamuwonye, amuddize kitaawe.
Udforsk ENTANDIKWA 37:22