1
Yokaana 6:35
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.
موازنہ
تلاش Yokaana 6:35
2
Yokaana 6:63
Mwoyo Mutukuvu y’awa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu.
تلاش Yokaana 6:63
3
Yokaana 6:27
Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”
تلاش Yokaana 6:27
4
Yokaana 6:40
Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.”
تلاش Yokaana 6:40
5
Yokaana 6:29
Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”
تلاش Yokaana 6:29
6
Yokaana 6:37
Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru.
تلاش Yokaana 6:37
7
Yokaana 6:68
Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo.
تلاش Yokaana 6:68
8
Yokaana 6:51
Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”
تلاش Yokaana 6:51
9
Yokaana 6:44
Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.
تلاش Yokaana 6:44
10
Yokaana 6:33
Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”
تلاش Yokaana 6:33
11
Yokaana 6:48
Nze mmere ey’obulamu.
تلاش Yokaana 6:48
12
Yokaana 6:11-12
Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta. Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.”
تلاش Yokaana 6:11-12
13
Yokaana 6:19-20
Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!”
تلاش Yokaana 6:19-20