Zeffaniya Ennyanjula

Ennyanjula
Nnabbi Zeffaniya yawa obubaka bwe mu kiseera ky'obufuzi bwa kabaka Yosiya owa Yuda wakati w'emyaka 640 ne 609 BC. Zeffaniya ayogera ku lunaku lwa Mukama, olunaku Mukama kw'agenda okulagira obusungu bwe eri abo bonna abaakola obubi. Zeffaniya ategeeza nti aba Yuda abatali beesigwa n'abo bajja kubonerezebwa ng'abantu b'amawanga amalala abatamanyi Katonda. Kyokka era Zeffaniya awa obubaka obw'essuubi nti walibaawo ekitundu ekya Yuda ekirirokoka.
Ebiri mu kitabo
I. Ennyanjula (1:1).
II. Yuda okusalirwa omusango (1:2-6).
III. Olunaku lwa Mukama (1:7—3:20).
A. Olunaku olwa ssaddaaka
n'omusango (1:7-9).
B. Obusungu obujja (1:10-18).
C. Okwenenya kusoboka (2:1-3).
D. Amawanga galabulwa (2:4—3:8).
E. Essuubi (3:9-20).

Айни замон обунашуда:

Zeffaniya Ennyanjula: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in