Zekkaliya 7
7
Okuva mu kusiiba okudda mu binyumu (7:1—8:23)
1Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogw'obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olw'omwezi ogw'omwenda, oguyitibwa Kisuleevu. 2Awo abantu be Beseri baali batumye Salezeeri ne Legemumereki n'abantu baabwe okwegayirira ekisa kya Mukama,#1 Sam 13:12, Mal 1:9 3n'okwogera ne bakabona ab'omu nnyumba ya Mukama w'eggye ne bannabbi, nga boogera nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogw'okutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”#2 Bassek 25:8, Zek 12:12 4Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti, 5“Gamba abantu bonna ab'omu nsi ne bakabona ng'oyogera nti, Bwe mwasiibanga ne mukubira ebiwoobe mu mwezi ogw'okutaano ne mu gw'omusanvu, mu myaka gino ensanvu (70), mwali musiibira nze?#2 Bassek 25:25, Is 58:4,5, Zek 1:12 6Era bwe mulya ne bwe munywa, muba temulya ku lwammwe era temunywa ku lwammwe?#1 Kol 11:20,21 7Tekibagwanidde kuwulira bigambo Mukama bye yalangiriranga mu bannabbi ab'edda, Yerusaalemi bwe kyalimu abantu era nga kiri mirembe, n'ebyalo byakyo ebyali bikiriraanye enjuyi zonna, n'ensi ey'obukiikaddyo n'ensenyi nga bikyalimu abantu.”#Yer 17:26
8Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, nga kyogera nti, 9“Bw'ati bw'ayogedde Mukama w'eggye, nti, Musalenga emisango egy'ensonga, era buli muntu akwatirenga muganda we ekisa n'okusaasira;#Kuv 22:21,22, Yer 5:28; 21:12, Mi 6:8, Mat 23:23 10era muleme okujooganga nnamwandu ne bamulekwa, omugenyi n'omwavu; era mulemenga okubaawo omuntu yenna aloowoozanga obubi mu mitima gwe eri muntu munne” 11Naye ne bagaana okuwulira ne bankuba amabega gaabwe, ne baziba amatu gaabwe baleme okuwulira.#Nek 9:29 12Weewaawo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'ejjinja ery'embaalebaale baleme okuwulira amateeka n'ebigambo Mukama w'eggye bye yaweererezanga n'omwoyo gwe mu mukono gwa bannabbi ab'edda; obusungu bungi kyebwava buva eri Mukama w'eggye.#2 Byom 36:16, Nek 9:30, Ez 11:19 13“ Bwe n'abakoowoola ne bagaana okuwulira, nange ne ŋŋaana okuwulira bwe bankoowoola,” bw'ayogera Mukama w'eggye,#Nge 1:24-28, Yer 11:11 14“naye n'abasaasaanya ng'omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Awo ensi gye baleka n'efuuka amatongo ensi eyeegombebwa.”#Ez 12:15,19, Zef 3:6
Айни замон обунашуда:
Zekkaliya 7: LBR
Лаҳзаҳои махсус
Паҳн кунед
Нусха
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: