Zekkaliya 14
14
1Laba, olunaku lwa Mukama lujja, ebintu ebyakunyagibwako lwe birigabanwa nga mulaba.#Yo 1:15 2Kubanga ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna ku Yerusaalemi okulwana; era ekibuga kirimenyebwa, n'ennyumba zirinyagibwa, n'abakazi balikwatibwa lwa maanyi: n'ekitundu ky'ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; n'ekitundu eky'abantu ekirisigalawo tekiriggibwa mu kibuga.#Is 13:16, Kung 5:11, Yo 3:2, Luk 21:24 3Awo Mukama alitabaala alirwana n'amawanga galinga bwe yalwana ku lunaku olw'olutalo. 4Era aliyimirira n'ebigere bye ku lunaku luli ku lusozi olwa Zeyituuni olw'olekedde Yerusaalemi ebuvanjuba, n'olusozi olwa Zeyituuni lulyatika wakati waalwo ebuvanjuba n'ebugwanjuba, era walibaawo ekiwonvu ekinene ennyo; ekitundu ekimu eky'olusozi kirijjulukuka okugenda obukiikakkono, n'ekitundu kyalwo ekimu okugenda obukiikaddyo.#Ez 11:23 5Nammwe muliddukira mu kkubo ery'omu kiwonvu eky'ensozi zange; kubanga ekiwonvu eky'ensozi kirituuka ku Azeri: weewaawo, mulidduka nga bwe mwadduka okukankana kw'ensi okwali mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda; era Mukama Katonda wange alijja n'abatukuvu bonna wamu naawe.#Am 1:1, Mat 16:27, 1 Bas 3:13 6Awo olulituuka ku lunaku luli omusana teguliba na kumasamasa na kizikiza, 7naye walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro; naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana.#Mat 24:36, Kuv 21:5 8Awo olulituuka ku lunaku luli amazzi amalamu galiva e Yerusaalemi; ekitundu kyago kirigenda mu nnyanja ey'ebuvanjuba n'ekitundu kyago mu nnyanja ey'ebugwanjuba; kiriba bwe kityo mu kyeya ne mu ttoggo.#Ez 47:1, Yo 2:20, Yok 4:10, Kub 22:1 9Era Mukama aliba kabaka w'ensi zonna; ku lunaku luli Mukama alibeera omu n'erinnya lye limu.#Zab 47:7, Mal 1:14, Bef 4:5,6 10Ensi yonna erikyuka eriba nga Alaba, okuva mu Geba okutuuka ku Limmoni ku luuyi olw'obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; era kiriyimuka kiribeera mu kifo kyakyo, okuva ku mulyango gwa Benyamini okutuuka ku kifo eky'omulyango ogwolubereberye, ku mulyango ogw'ensonda; n'okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.#Is 2:2; 40:4, Yer 31:8; 37:13, Zek 2:4; 12:6 11Era abantu balibeera mu kyo, so nga tewakyali kikolimo; naye Yerusaalemi kiribeerawo mirembe.#Yer 23:6, Kub 22:3 12Na kino kye kibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga gonna agalwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe galivundira mu bunnya bwago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe. 13Awo olulituuka ku lunaku luli okuyoogaana okunene okuva eri Mukama kuliba mu bo; era balikwata buli muntu ku mukono gwa munne, n'omukono gwe guliyimuka okukuba omukono gwa munne.#1 Sam 14:20, Kag 2:22 14Era ne Yuda alirwana ne Yerusaalemi; era obugagga obw'amawanga gonna agaliraanyeewo bulikuŋŋaana, zaabu n'effeeza n'ebyambalo, bingi nnyo nnyini.#Ez 39:10, Zek 12:2 15Era bwe kityo bwe kiriba ekibonoobono eky'embalaasi n'eky'ennyumbu n'eky'eŋŋamira n'eky'endogoyi n'ensolo zonna eziriba mu bisulo biri, ng'ekibonoobono ekyo bwe kiriba. 16Awo olulituuka buli muntu alisigalawo ku mawanga gonna agajja okulwana ne Yerusaalemi anaayambukanga buli mwaka okusinza Kabaka, Mukama w'eggye, n'okukwata embaga ey'ensiisira.#Leev 23:24,39-43, Zek 8:21 17Awo olulituuka buli muntu mu bika byonna eby'ensi ataayambukenga Yerusaalemi kusinza Kabaka, Mukama w'eggye, enkuba terimutonnyera.#1 Bassek 17:1, Is 60:12 18Era ekika kya Misiri bwe kitaayambukenga bwe kitajjenga, nabo teribatonnyera; walibaawo ekibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira. 19Ekyo kiriba kibonerezo kya Misiri n'ekibonerezo eky'amawanga gonna agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira. 20Ku lunaku luli ku ndege z'embalaasi kulibaako nti “OBUTUKUVU ERI MUKAMA;” era n'entamu mu nnyumba ya Mukama ziriba ng'ebibya mu maaso g'ekyoto.#Kuv 28:36, Mi 4:13 21Weewaawo, buli ntamu mu Yerusaalemi ne mu Yuda eriba ntukuvu eri Mukama w'eggye; n'abo bonna abawaayo ssaddaaka balijja ne bazitoolangako ne bafumba omwo; era ku lunaku luli nga tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama w'eggye.#Ez 44:9, Yo 3:17
Айни замон обунашуда:
Zekkaliya 14: LBR
Лаҳзаҳои махсус
Паҳн кунед
Нусха
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: