Matayo 6:16-18
Matayo 6:16-18 LBR
Nate bwe musiibanga, temubeeranga nga bannanfuusi, abalina amaaso ag'ennaku; kubanga beeyonoona mu ndabika yaabwe, abantu balyoke babalabe nga basiiba. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe. Naye ggwe bw'osiibanga, osaabanga amafuta ku mutwe, onaabanga ne mu maaso; abantu balemenga okulaba ng'osiiba, wabula Kitaawo ali mu kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.