Matayo 25

25
Olugero lw'abawala ekkumi
1 “Mu biro ebyo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananyizibwa n'abawala ekkumi (10), abaakwata ettabaaza zaabwe, ne bagenda okwaniriza awasa omugole. # Luk 12:35,36, Kub 19:7 2Naye bannaabwe abataano (5) baali basirusiru, n'abataano (5) be baalina amagezi. 3Kubanga abasirusiru, bwe baatwala ettabaaza zaabwe, ne bateetwalira mafuta; 4naye abalina amagezi ne batwala amafuta mu macupa gaabwe wamu n'ettabaaza zaabwe. 5Awasa omugole bwe yalwayo, bonna ne babongoota ne beebaka. 6Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti, ‘Laba, awasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana.’ 7Abawala bonna ekkumi (10) ne balyoka bagolokoka, ne balongoosa ettabaaza zaabwe. 8Abasirusiru ne bagamba abalina amagezi nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe; kubanga ettabaaza zaffe ziggweerera.’ 9Naye abaalina amagezi ne baddamu, ne babagamba nti, ‘mpozzi tegaatumale fenna nammwe: waakiri mugende eri abatunda, mwegulireyo.’ 10Abawala abasirusiru bwe baali bagenda okugula amafuta, awasa omugole n'atuuka; abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole; oluggi ne luggalwawo. 11Oluvannyuma abawala bali abasirusiru nabo ne bajja, ne bagamba nti, ‘Mukama waffe, mukama waffe, tuggulirewo.’#Luk 13:25,27 12Naye Ye n'addamu n'agamba nti, ‘Mazima mbagamba nti sibamanyi.’#Mat 7:23 13Kale mutunule, kubanga temumanyi lunaku newakubadde ekiseera.” #Mat 24:42
Olugero lwa Ttalanta
(Luk 19:11-27)
14 # Luk 19:12-27 “Obwakabaka obw'omuggulu bufaananako ng'omuntu eyali agenda okutambula mu nsi endala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye. # Mat 21:33 15N'awa omu ettalanta ttaano,#25:15 Zino zaali zenkana n'empeera y'omukozi ey'emyaka kkumi n'ettaano. omulala bbiri, omulala emu buli muntu ng'obusobozi bwe bwe bwali; n'agenda.#Bar 12:6 16Amangwago oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'agenda n'azisuubuzisa n'aviisaamu ettalanta ttaano endala. 17Bw'atyo n'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri, n'aviisaamu bbiri endala. 18Naye oli eyaweebwa emu n'agenda n'asima ekinnya mu ttaka, n'akwekamu effeeza ya mukama we. 19Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, mukama w'abaddu abo n'akomawo, n'abala nabo omuwendo. 20Omuddu eyaweebwa ettalanta ettaano n'ajja n'aleeta ettalanta ettaano endala, n'agamba nti, ‘Mukama wange, wandekera ettalanta ttaano; laba, n'aviisaamu ettalanta ttaano endala.’ 21Mukama we n'amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi, yingira mu ssanyu lya mukama wo.’#Mat 25:23, Mat 24:45-47, Luk 16:10 22N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri; laba, n'aviisaamu ettalanta bbiri endala.’ 23Mukama we n'amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi, yingira mu ssanyu lya mukama wo.’#Mat 25:21 24N'oli eyaweebwa ettalanta emu n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, nakumanya ng'oli muntu mukakanyavu ng'okungulira gy'otaasigira, ng'okuŋŋaanyiza gy'otaayiyira; 25ne ntya, ne ŋŋenda, ne ngikweka mu ttaka ettalanta yo, laba, eyiyo yino.’ 26Naye mukama we n'addamu n'amugamba nti, ‘Oli muddu mubi mugayaavu! wamanya nti nkungulira gye ssaasigira, nkuŋŋaanyiza gye ssaayiyira; 27kale kyakugwanira okugiwa abasuubuzi effeeza yange, nange bwe nnandizze nandiweereddwa eyange n'amagoba gaamu. 28Kale mumuggyeeko ettalanta, mugiwe oli alina ettalanta ekkumi (10). 29Kubanga buli muntu alina aliweebwa, era aliba na bingi; naye atalina, aliggibwako na kiri kyali nakyo.#Mat 13:12 30N'omuddu oyo ataliiko ky'agasa mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okulumwa obujiji.’ ”
Okusalirwa omusango okw'enkomerero
31 “Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye. # Mat 16:27, Zek 14:5, Kub 20:11-13 32Amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibaawulamu ng'omusumba bw'ayawula endiga n'embuzi,#Bar 14:10 33endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku mukono ogwa kkono.#Ez 34:17 34Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi; 35kubanga nnalina enjala ne mumpa eky'okulya, nnalina ennyonta ne munnywesa, nnali mugenyi ne munsuza;#Is 58:7 36nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali musibe mu kkomera, ne mujja mundaba.’ 37Awo abatuukirivu balimuddamu nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala ne tukuliisa? Oba ng'olina ennyonta ne tukunywesa?#Mat 6:3 38Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi ne tukusuza? Oba ng'oli bwereere ne tukwambaza? 39Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tujja tukulaba?’ 40Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.’#Nge 19:17, Beb 2:11 41Awo alibagamba n'abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be;#Mat 7:23, Kub 20:10,15 42kubanga nnalina enjala, temwampa kya kulya; nnalina ennyonta, temwannywesa, 43nnali mugenyi, temwansuza, nnali bwereere, temwannyambaza, mulwadde, ne mu kkomera, temwannambula.’ 44Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bwereere, oba mulwadde, oba mu kkomera, ne tutakuyamba?’ 45Awo alibaddamu, ng'agamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mutaakikolera omu ku abo abasinga obuto, temwakikolera nze.’ 46Olwo abo baligenda ne baweebwa ekibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”#Yok 5:29, Dan 12:2

Айни замон обунашуда:

Matayo 25: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy