Matayo 15

15
Yesu ayogera ku bulombolombo bw'Abayudaaya
(Mak 7:1-13)
1Awo Abafalisaayo n'abawandiisi abaava mu Yerusaalemi, ne bajja eri Yesu ne bagamba nti,#Mat 7:1-23 2“Abayigirizwa bo kiki ekiboonoonyesa obulombolombo bwe twaweebwa abakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”#Ma 4:2, Luk 11:38 3Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “Nammwe kiki ekiboonoonyesa etteeka lya Katonda olw'obulombolombo bwe mwaweebwa? 4Kubanga Katonda yagamba nti, ‘Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko,’ nate nti, ‘Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi.’#Kuv 20:12; 21:17, Ma 5:16 5Naye mmwe mugamba nti, ‘Buli aligamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa, nkiwadde Katonda, 6alireka okusaamu ekitiibwa kitaawe.’ Bw'emutyo mwadibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa.” 7“Bannanfuusi mmwe, Isaaya yayogera bulungi ebya Katonda ebibakwatako ng'agamba nti,”#Is 29:13
8 “‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa;’”
“‘Naye omutima gwabwe gundi wala.’ ”
9 “‘Naye bansinziza bwereere,’”
“Bayigiriza amateeka g'abantu obuntu nga bye by'okukwata.”
Ebyonoona empisa z'omuntu
(Mak 7:14-23)
10Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, n'abagamba nti, “Muwulire, era mutegeere; 11ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu; naye ekiva mu kamwa, ekyo kye kyonoona omuntu.”#Mat 12:34, 1 Tim 4:4 12Awo abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Omanyi ng'Abafalisaayo baanyiize, bwe baawulidde ekigambo ekyo?” 13Naye Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “Buli kisimbe Kitange ow'omu ggulu ky'ataasimba, kirisimbulwa.#Yok 15:2 14Mubaleke; be basaale abatalaba. Naye omuzibe w'amaaso bw'akulembera muzibe munne, bombi baligwa mu bunnya.”#Mat 23:24, Luk 6:39, Yok 9:40, Bar 2:19 15Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Tunnyonnyole amakulu g'olugero olwo.” 16Yesu n'agamba nti, “Era nammwe temunnaba kuba na magezi? 17Temutegeera nti buli ekiyingira mu kamwa kigenda mu lubuto, mwe kiva ne kisuulibwa mu kiyigo? 18Naye ebifuluma mu kamwa, biva mu mutima; n'ebyo bye byonoona omuntu. 19Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, n'okuvuma.#Lub 8:21 20Ebyo bye byonoona omuntu; naye okulya nga tanaabye mu ngalo tekwonoona muntu.”
Okukkiriza kw'omukazi Omukanani
(Mak 7:24-30)
21Yesu n'avaayo, n'agenda ku njuyi z'e Ttuulo n'e Sidoni.#Mak 7:24-30 22Kale, laba, omukazi Omukanani n'ava mu kitundu ekyo, n'ajja gy'ali n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “Onsaasire, Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwadde nnyo dayimooni.” 23Naye Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja ne bamwegayirira, nga bagamba nti, “Musiibule; kubanga ajja atuleekaanira.” 24Yesu n'addamu n'agamba nti, “Saatumibwa walala wonna okuggyako eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri.”#Mat 10:6 25Naye omukazi n'ajja, n'amusinza, ng'agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.” 26Yesu n'addamu n'agamba nti, “Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'ogisuulira obubwa.” 27Naye omukazi n'agamba nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n'obubwa bulya ku bukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.” 28Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti, “Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene! Kibeere gy'oli nga bw'oyagala.” Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo.#Mat 8:10,13
Yesu awonya abantu bangi
29Yesu n'avaayo, n'ajja ku lubalama lw'ennyanja y'e Ggaliraaya; n'alinnya ku lusozi, n'atuula okwo.#Mak 7:31 30Ebibiina bingi ne bijja gy'ali, nga birina abawenyera, n'abazibe b'amaaso, ne bakasiru, n'abalema, n'abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n'abawonya, 31ekibiina n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba bakasiru nga boogera, abalema nga balamu, abawenyera nga batambula, n'abazibe b'amaaso nga balaba; ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri.#Mak 7:37
Yesu aliisa abantu enkumi nnya
(Mak 8:1-10)
32 # Mak 8:1-10 Yesu n'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti, “Nsaasira abantu, kubanga leero baakamala nange ennaku ssatu nga tebalina kya kulya, n'okubasiibula nga balina enjala sikyagala, mpozzi banaazirikira mu kkubo.”#Mat 14:14 33Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Tunaggya wa emigaati emingi bwe giti mu ddungu, egiyinza okukkusa ekibiina ekinene ekyenkana wano?” 34Yesu n'abagamba nti, “Mulina emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Musanvu, n'ebyennyanja bitono si bingi.” 35Awo Yesu n'alagira ekibiina okutuula wansi; 36n'atoola emigaati omusanvu n'ebyennyanja; ne yeebaza n'abimenyamu n'awa abayigirizwa, n'abayigirizwa ne bagabira ebibiina. 37Bonna ne balya, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ne bujjuza ebisero musanvu. 38N'abo abaalya baali abasajja enkumi nnya (4,000), nga tossizaako bakazi n'abaana. 39N'asiibula ebibiina, n'asaabala mu lyato, n'ajja mu kitundu ky'e Magadani.

Айни замон обунашуда:

Matayo 15: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy